Mary Paula Kebirungi Turyahikayo

Mary Paula Kebirungi Turyahikayo era amanyiddwa nga Turyahikayo Kebirungi Mary Paula (yazaalibwa nga 15 Gatonnya / January 1961) Munnayuganda nga munnabyabufuzi era eyasoma embeera z'abantu.[1] Ye mubaka mu Paalamenti owa konsitityuwensi y'e Rubabo,mu Disitulikiti y'e Rukungiri wansi w'ekibiina ki National Resistance Movement (NRM).[1][2][3][4] Yavuganya ku kifo kino mu 2021-2026 naye n'awangulwa ng'afunye obululu 20,287.

Ebyokusoma kwe kyusa

Mu 1974, yatandika okusoma mu St. Theresa Primary School era gye yatuulira ebigezo bya P7, olwo oluvannyuma ne yeegatta ku Immaculate Heart Girls Senior Secondary School era gye yatuulira S4 mu 1978.[1] Kyokka S6 yo yagituulira mu Kibuli S.S mu 1980. Yabeebwa ekifo mu Yunivaasite e Makerere n'asomayo ddiguli mu mbeera z'abantu eya Bachelor's degree of Arts in Social Sciences (Political Science, Sociology)[5] mu mwaka 1984.[1] Mu 1997, yasomayo satifikeeti mu bukulembeze oluvannyuma lwa ddiguli mu ttendekero lya Uganda Management Institute.[1] Mary era yaddayo ku Uganda Management Institute n'afunayo Dipulooma mu by'obukulembeze mu 2000 era oluvannyuma yaddayo n'asomayo ddiguli eyookubiri eya Master of Public Health Leadership mu 2009.[1]

Emirimu gye nga tannatandika byabufuzi kyusa

Yali musomesa era nga y'akulira essomo ly'Ebyafaayo ku ssomero lya Baptist High School, Mombasa, Kenya(1986-1988) ne ku Afraha High School, Nakuru, Kenya (1988-1990).[1] Mu 1994, yeegatta ku puloogulaamu ya Africa Science Technology Exchange nga y'agikulembera oluvannyuma ne yeegatta ku Minisitule y'ebyobulamu gye yaweereza mu kuddukanya emirimu gya Minisitule egya bulijjo (1998-2004). Okuva awo, yakolako ng'amyuka akulira enzirukanya y'emirimu mu kitongole ekiddukanya emirimu gya Gavumenti ekya Public Sector(2004-2005).[1] Era yakolao ng'amyuka akulira eby'emirimu mu kitongole kya Global Fund to fight AIDS, TB, Malaria (2004 - 2005). Yakolako ng'omu ku banoonyereza ku African Energy Policy Research Network, era ng'omusomsa w'essomo ly'Ebyafaayo ne Kayigansi (Geography) mu masomero gy'e Kenya.[5]

ebyobufuzi kyusa

Okuva mu 2006 - 2021, yaweereza ng'omubaka mu Paalamenti ya Uganda okuli Paalamenti ey'omunaana, ey'omwenda n'ey'ekkumi.[1][6] Mu 2001 yawangula eyali Minisita era aliko cansala wa Makerere University, Prof. Mondo Kagonyera, ku kifo ky'omubaka wa Rubabo Konsitityuwensi.[5]

Mu Paalamenti yeeyongerako obuvunaanyizibwa obulala okubukiiko bwa Paalamenti obw'enjawulo, mu bitongole bya Gavumenti eby'enjawulo ne bizinensi za Gavumenti ez'enjawulo.[1]

Ebyomunda ebimukwatako kyusa

Mufumbo.[1] By'anyumirwa mu biseera bye eby'eddembe anyumirwa okuwuliriza ennyimba ez'eddiini, okukyalira mikwano gye, okutambulako n'okukubaganya ebirowoozo.[1] Ayagala nnyo okutumbula ebyobulamu n'abavubuka abawala mu ggwanga.[1]

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwamu kyusa

 

  • Mary Paula Kebirungi Turyahikayo on Facebook
  1. 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 1.11 1.12 "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-30. Retrieved 2021-04-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-15. Retrieved 2021-04-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.ugandadecides.com/candidate.php?id=553
  4. http://dailymonitoruganda.blogspot.com/2016/02/minister-muhwezi-beaten-in-rujumbura.html
  5. 5.0 5.1 5.2 "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-15. Retrieved 2021-04-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  6. https://visiblepolls.org/ug/2016-election/candidates/turyahikayo-kebirungi-mary-paula-494/