Mayuge
Mayuge kibuga mu bitundu by'obuvanjuba bwa Uganda . Ekifo ekitebe kya Disitulikiti y'e Mayuge we kiri . [1]
Wekisangibwa
kyusaMayuge esangibwa ku luguudo lwa Musita–Mayuge–Lumino–Majanji–Busia, nga kiro mita 14(9 mi) ebugwanjuba bw’obuvanjuba bwa Musita . [2] Kino kiweza kiro mita 28 (17 mi) mu bukiikaddyo bwa Iganga, ekibuga ekinene ekisinga ekiri okumpi. [3]
Mayuge eri ku kiro mita 38 (24 mi), ebuvanjuba bwa Jinja, ekibuga ekisinga obunene mu kitundu kya Busoga . [4] Ebitundu ebiriraanyewo mulimu Bugade, Bwondha, Bugoto, Buwaya, Busakira, Kigandalo, Musita, ne Mbaale. Endagiriro z'ettaka eza Mayuge ziri 0°27'28.0"Mambuka, 33°28'48.0"Buvanjuba (Bukiika ddyo:0.457782; Bukiika kkono:33.480003). [5] Munisipaali ya Mayuge eri ku buwanvu bwa 1,158 metres (3,799 ft) waggulu w’obugulumivu bw’ennyanja. [6]
Okulambika.
kyusaMayuge kitundu kitono eky’omu byalo nga kiri mu nteekateeka z’okufuuka ekibuga. Mayuge ye munisipaali yokka mu Disitulikiti y’e Mayuge. Obuyonjo kye kimu ku kusoomoozebwa okunene ekibuga kino kwe kyayolekagana nabyo mu 2010. [7]
Obungi bw'abantu
kyusaMu mwaka gwa 2002, okubala abantu mu ggwanga lyonna kwabalirira nti abantu ba Mayuge baali nga 8,720. Mu mwaka gwa 2010, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kyabalirira nti abantu bano baali 11,500. Mu mwaka gwa 2011, UBOS yabalirira nti abantu baali 11,900. [8] Nga 27 Ogwomunaana 2014, okubala abantu mu ggwanga lyonna kwalaga omuwendo gw'abantu 17,151. [9]
Emirimu gy’ebyenfuna
kyusaEmirimu gy’ebyenfuna mu kibuga kino gisinga kwetooloola ku bulimi obw’okweyimirizaawo, okulunda enkoko, n’obulunzi bw’ebisolo. [10]
Amasanyalaze
kyusaMayuge we wali essundiro ly’amasannyalaze g’enjuba erya Mayuge Solar Power Station, ekyuma kya PV eky’amasannyalaze g’enjuba ekya megawatts 10 ezigabira amasannyalaze mu Uganda. Faamu eno ekola amasannyalaze g’enjuba yatandikibwawo mu Gwomukaaga 2019. [11]
Laba nabino
kyusa- Ekitundu kya Busoga
- Olukalala lw'ebibuga n'obubuga mu Uganda
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/police-disperse-kyagulanyis-supporters-in-mayuge-
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Musita,+Mulingilile/Mayuge/@0.4922278,33.3626027,12z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177e8a51abc552fd:0xfd6311acd8049c7!2m2!1d33.3848598!2d0.5281566!1m5!1m1!1s0x177e5e5f15195c8f:0x4ce2390c51f61a7a!2m2!1d33.4803889!2d0.4562893!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Iganga/Mayuge/@0.5547366,33.3555737,12z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177ef28a75729ee9:0x2a5b0f015719e99d!2m2!1d33.4719832!2d0.6045833!1m5!1m1!1s0x177e5e5f15195c8f:0x4ce2390c51f61a7a!2m2!1d33.4803889!2d0.4562893!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Jinja/Mayuge/@0.4847429,33.1989285,11z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177e7b862c391f47:0x300fe90f956a9f4a!2m2!1d33.2026122!2d0.4478566!1m5!1m1!1s0x177e5e5f15195c8f:0x4ce2390c51f61a7a!2m2!1d33.4803889!2d0.4562893!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B027'28.0%22N+33%C2%B028'48.0%22E/@0.4577778,33.48,17z/data=!3m1!4b1!4m2!3m1!1s0x0:0x0
- ↑ https://www.floodmap.net/Elevation/ElevationMap/?gi=229292
- ↑ https://archive.today/20140528190713/http://www.newvision.co.ug/D/8/19/731341
- ↑ https://web.archive.org/web/20140707231502/http://www.ubos.org/onlinefiles/uploads/ubos/pdf%20documents/TP52010.pdf
- ↑ http://citypopulation.de/Uganda-Cities.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20140529052109/http://www.newvision.co.ug/D/9/756/673961
- ↑ https://www.esi-africa.com/news/ugandas-solar-co-secures-land-for-a-power-plant/