Mbarara City FC, kiraabu ya Uganda ey'omupiira mu kibuga ky'e Mbarara mu Uganda, nga ezannyira mu kibinja kya Uganda ekyawagulu era ng'era abasambi baayi bali ku musaala, Ekibinja kyababinyweera ekya Uganda gyebabadde bazannyira okuviira ddala mu Gwokutaano nga 5, 2017, oluvannyuma lw'okuwangula Synergy FC mu kibinja kya Uganda eky'okubiri mu mupiira ogwaali ogusalawo abagenda mu kibinja ekyawagulu, nga kiraabu enk ekozesa ekisaawe kya Kakyeka nga ekifo webakyaliza. Mbarara City FC erina abawagizi bangi okusinga ttiimu endala yonna ng'eva mu Bitundu by'omubugwanjuba bwa Uganda.[1][2]

Ebigikwatako

kyusa

Kiraabu eno yatandikibwaawo mu 2010 nga eyitibwa Citizens FC, oluvannyuma lw'abaali badukanya esomero lya Citizens High School e Mbarara okusalawo okutandika ttiimu okuzannya omupiira gw'empaka z'abakyakayiga okuyamba mu kukulakulanya n'okukuza omupiira kusomero.[3] Ttiimu eno yali ezannyira mu liigi y'ekibinja kya Uganda ekya Bugwajuba okutandikira mu 2010 okutuuka mu 2014. Mu 2014, ttiiimu eno yawangula liigi y'ekibinja kya Uganda eky'omubugwanjuba era nebagisumusa okugenda mu Kibinja kya Uganda eky'okubiri.[4] Mu Gwomusanvu, 2016, Citizens FC baagituuma Mbarara City FC, nga basinziira ku kwagala okubakiriza n'okufuna abawagizi obungi mu bantu b'e Mbarara wamu ne mu Bitundu by'Omubuvanjuba bwa Uganda. Kino kyali kiva kukubeera nga kiraabu okubeera nga yali yasumusibwa okugenda mu kibinja kya Uganda ekya wagulu, Ekibinja kya Uganda ekyababinyweera, mu sizoni yaakyo eyasooka oluvannyuma lw'okufuna erinya lya Mbarara City FC. Kiraabu yafuna okusumuzibwa oluvannyuma lw'okukuba Synergy 2–1 mu mupiira ogwa fayinolo ogw'ekibinja kya Uganda eky'okubiri, ogwaali ogw'akamalirizo nga 5 Ogwokutaano mu 2017.[5]

Sizoni y'ekibinja kya Uganda ekisooka mu 2017/2018

kyusa

Mbarara City FC yeetaba mu sizoni y'ekibinja kya Uganda ekyababinyweera, nga kino kyekibiinja ekisooka eky'omupiira gwa Uganda. Mu sizoni yabwe eyasooka mu kibinja kyawagulu, yeeyali ttiimu yokka mu 16 eyali esibuka mu bitundu bya Uganda eby'omubigwanjubwa. Omupiira gwaabwe ogwaali gusooka baali battunka ne Bul FC nga 12 Ogwomwenda mu 2017, nga guno gwakomekereza balemaganye 0-0. Guno gwagobererwa gwebaawangula Express FC nga bagikibye 1-0 nga ggoolo eteebeddwa Pitis Barenge, eyali enzaalwa za Burundi mu ddakiika ey'e 73 nga 16 Ogwomwenda.[3] Kiraabi yamalira mu kifo kya 11, neyeewala okusalibwaako.[6]

Sizoni y'ekibinja kya Uganda ekyawagulu mu 2018/19

kyusa

Mbarara City baagibwa mu kibinja kya Uganda ekyababinyweera ekya Uganda kutandika kwa sizoni, oluvannyuma lw'okugwa ekigezo ky'okulambula ekisaawe, naye nebatekayo okusaba kwabwe era nebabazaamu.[7] Mbarara City baali kuntiko y'ekimeeza oluvannyuma lw'emipiira munaana nga balina obubonero 16. Paul Mucurezi yeeyateeba ggoolo yekka nga bazannya Bul okutwala Mbarara City okugenda kuntiko y'ekimeeza omulundi ogusookera ddala mu byafaayo bya ttiimu eno.[8] Mbarara City yawangula emipiira gyabwe enna ewaka, ng'eno yali likodi ya kiraabu. Emipiira gya lawuundi esooka gyakyusibwa oluvannyuma negitwalibwa ku kisaawe ky'e Kavumba recreation. Mbarara City yazannya emipiira 3 e Kavumba era nebagiwangula gyonna (Mbarara City 3-1 Express, Mbarara City 2-0 Maroons ne Mbarara City 2-1 Villa). Kiraabu okuva olwo yaddayo ku kisaawe ky'e Kakyeka mu Mbarara.[9]

Ekisaawe

kyusa

Ttiimu eno ezannyira emipiira gyayo egy'ewaka ku kisaawe ky'e Kakyeka, mu kibuga ky'e Mbarara,[10] nga kituuza abawagizi 10,000.[11] Ekisaawe era kikozesebwa mu mipiira z'empaka ez'omukitundu ky'omubugwanjuba ekya Uganda.[12]

Obuwagizi

kyusa

Obunji bw'abawagizi ba kiraabu ya Mbarara City FC okuva mu Bitundu by'Omubugwanjuba bwa Uganda mu disitulikiti y'e Mbarara, Isingiro, Ibanda, Kiruhura, Ntungamo, Sheema, Bushenyi wamu ne mu kibuga kya'eggwanga ekikulu ekiyitibwa Kampala

Abazannyi abamannyikiddwa

kyusa

Byebafunyeemu

kyusa
  • Liigi y'ekibinja ky'Omugwanjuba emu
2014
  • Fayinolo y'ekibinja eky'okubiri, mu mupiira ogwali gusalawo eyalina okusumusibwa okugenda mu kibinja ekisooka
2017

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. http://ugbliz.com/mbarara-city-f-c-beat-synergy-f-c-qualify-azam-uganda-premier-league
  2. https://www.fctables.com/teams/mbarara-united-189790/
  3. 3.0 3.1 http://chimpreports.com/mbarara-city-fc-coach-delighted-by-first-win-past-express-fc/
  4. https://kawowo.com/2015/05/26/wakiso-united-promoted-to-2015-16-fufa-big-league/
  5. https://chimpreports.com/fbl-maroons-crowned-champions-as-mbarara-city-seal-final-promotion-slot/
  6. Wikipedia:Citation needed
  7. https://www.softpower.ug/mbarara-city-fc-beat-bul-to-earn-first-ever-upl-lead/
  8. https://web.archive.org/web/20181009111213/https://sportsfanug.com/4393-2/
  9. https://www.google.com/maps/place/Kakyeka+Stadium,+Mbarara,+Uganda/@-0.6106415,30.6449596,451m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x19d91bb69655b165:0xe1a2e35d428a8437!8m2!3d-0.6105258!4d30.6469534
  10. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1409457/football-returns-kakyeka-stadium
  11. https://www.ugandafootball.com/district_teams.php?d=Mbarara
  12. https://www.ugandafootball.com/district_teams.php?d=Mbarara
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2021-07-09. Retrieved 2024-09-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa