Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga
Ono ye minisita mu lukiiko lwa baminisita oba Kabinet aba avunaanyizibwa ku nsonga ez'omunda mu ggwanga. Mu mawanga manji naddala ago agali mu luse olumu ne Bungereza (Commonwealth) oba ago agaafugibwa Bungereza nga amatwale minisita ono aba avunaanyizibwa butereevu ku Poliisi y'egwanga[1], ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu n'okugaba obutuuze, ekitongole kyamakomera, nebirala [2]ebiringa ebyo era etwalibwa okuba emu ku minisitule ezenkizo mu mawanga manji