Minisitule y'ebyamazzi n'obutonde bw'ensi (Uganda)
Minisitule y'amazzi n'obutonde bw'ensi (MWE), is a Minisitule ya Uganda eri ku ddaala ly'abaminisita. Ky'ekivunaanyizibwa ku kukwasaganya amaloboozi n'enkozesa y'amazzi n'ebyobugagga eby'omuttaka ku lw'obulungi bw'abantu mu Uganda".[1] Minisitule eno ekulemberwa Minisita Sam Cheptoris.[2]
Endagiriro w'ekisangibwa
kyusaEkitebe ekikulu ekya minisitule kisangibwa ku luguuda lwa Port Bell, ku muliraano gwa Luzira, mu Divizoni y'e Nakawa eya Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obugazi.[3] Ebibalo by'ekitebe kya Minisitule biri 0°17'56.0"N, 32°38'56.0"E (Obukiika:0.298889; Obusimba:32.648889).[4]
Abayambi ba Minisita
kyusaMinisita ay'ambibwako ba minisita ababeezi babiri.
- Minisita omubeezi ow'amazzi: Ronald Kibuule[5]
- Minisita omubeezi ow'obutonde bw'ensi: Mary Goretti Kitutu[5]
Obukulembeze bw'ayo
kyusaMu ngeri y'obukulembeze, Minisitule y'agabanyizibwamu obukiiko bw'aba Dayilekita busatu:
- Akakiiko k'aba Dayilekita akakwasaganya amazzi n'eby'obugagga eby'omuttaka
- Akakiiko k'aba Dayilekita akakwasaganya enkulakulana y'amazzi
- Akakiiko k'aba Dayilekita akakwasaganya ensonga z'obutonde bw'ensi
Ebitongole ebisalawo ku nsonga z'obutonde
kyusaMinisitule ekolera wamu n'ebitongole eby'atandikibwawo Gavumenti naye nga by'emalirira n'ekigendererwa eky'okutuukiriza ebigendererwa byaabwe.[6]
- Ekitongole ekikwasaganya ebibira
- Dipaatimenti ekwasaganya enkyuakyuka y'ebeera y'obudde obw'ekitundue
- Ekitongole ekikwasaganya obutonde bw'ensi
- Ekitongole ekibunyisa amazzi mu Ggwanga ekya National Water and Sewerage Corporation
Olukalala lw'aba Minisita
kyusa- Sam Cheptoris (6 Ogwomukaaga 2016 - okutuusa kaakano)[7]
- Ephraim Kamuntu (15 Ogwomunaana 2012 - 6 Ogwomukaaga 2016)[8]
- Maria Mutagamba (1 Ogwomukaaga 2006 - 15 Ogwomunaana 2012)[9]
- Kahinda Otafiire (2003 - 1 Ogwomukaaaga 2006)[10]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ http://www.mwe.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=24:administration-and-management&catid=11&Itemid=176
- ↑ http://allafrica.com/stories/201606290702.html
- ↑ http://www.mwe.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=7&Itemid=101
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B017'56.0%22N+32%C2%B038'56.0%22E/@0.2988944,32.6467057,445m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.298889!4d32.648889
- ↑ 5.0 5.1 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2016-10-07. Retrieved 2023-06-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.mwe.go.ug/index.php?option=com_content&view=category&id=12&Itemid=168
- ↑ https://www.africanews.com/2016/06/07/museveni-appoints-his-wife-to-key-ministry-in-new-cabinet//
- ↑ https://web.archive.org/web/20120816235713/https://www.newvision.co.ug/news/634161-president-yoweri-museveni-reshuffles-cabinet.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
- ↑ https://web.archive.org/web/20151023124619/https://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=234&const=Ruhindi++County&dist_id=106&distname=Mitooma
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
kyusa- Omukutu omutongole ogwa website
Template:Ministries of Uganda00°17′56″N 32°38′56″E / 0.29889°N 32.64889°ELua error: Invalid configuration file.