Miria Matembe
Miria Rukoza Koburunga Matembe, yazaalibwa nga 28 Ogwomunaana mu 1953, nga y'omu kubaali mu Paalamenti egata ababaka okuva ku lukalo lwa Afrika eyali ava mu Uganda.[1] Bweyali awereza nga ssentebe w'akakiiko ku by'amateeka, eddembe ery'enjawulo wamu n'empisa, akakiiko akaali ak'enkomeredde mu Paalamenti.
Mu gwomukaaga mu 2006, yeegata ku Reagan-Fascell Democracy Fellow wamu ne National Endowment for Democracy.[2]
Matembe akola nga ssentebe w'ekibiina kya Citizen Coalition on Electoral Democracy mu Uganda (CCEDU).[3][4]
Obulamu bwe
kyusaMatembe yazaalibwa mu Bwizi Bwera mu Kashari e Mbarara, nga bazadde be beebaali Samuel ne Eseza Rukooza abaali abalimi. Matembe yeeyali omwana ow'okuna ku baana mwenda, nga abalenzi baali bataano ate abawala bana.[5]
Okusoma kwe
kyusaMatembe yagenda ku Rutooma Primary School, ng'eno gyeyava okugenda ku Bweranyangi Girls gyeyatuulira S4. Yagenda ku Namasagali College, ng'eno gyeyatuulira S6.[6] Yafuna Diguli ye mu By'amateeka okuva ku Yunivasite ye Makerere, ng'ate Diguli ey'okubiri mu mateeka yagifuna okuva ku Yunivasite ye Warwick.[7]
Emirimu gye
kyusaMatembe yatandika emirimu nga munamateeka w'eggwanga eyali omuyizi mu kitongole kya minisitule evunaanyizibwa ku by'okulwanirira obw'enkanya.Oluvannyuma yagenda okusomesa kutendekero lya Makerere University Business School (MUBS) ng'ebiseera ebyo lyali liyitibwa Uganda College of Commerce. Oluvannyuma lw'emyaka etaano, yagenda mu Central Bank eya Uganda, oba gy'oyinza okuyita Baanka ya Uganda.[8]
Yeeyali Omukyala Omubaka wa Paalamenti eyali akiikirira Disitulikiti ye Mbarara okuva mu 2001 okutuuka mu 2006.[9] Yawangulwa Peggy Waako eyali ow'ekibiina kya NRM mu kulonda kwa 2021 okwali okwa babaka ba Paalamenti abaali bakuliridde mu myaka, ng'eno gyeyali ayagala okukiikirira abantu abakuze mu myaka, mu Paalamenti eye kumineemu.[10]
Okulwanirira eddembe ly'abakyala
kyusaMiria Matembe abadde musaale mukulwanirira eddembe ly'abakyala mu Uganda. Okumala emyaka 20 okutandikira mu 1989, yali mubaka wa Paalamenti ya Uganda. Yakolako mu gavumenti ya Uganda nga minisita avunaanyizibwa ku mpisa n'obwesiimbu okuva mu 1998 okutuuka mu 2003, oluvannyuma mu kaseera ako mweyafuukira omu kubaali mu Paalamenti egatta ababaka okuva kusemazinga wa Afrika, nga ye yali akiikirira Uganda.
Mu 1995, yali ku kakiiko akatondawo semateeka wa Uganda nga y'omu kubakugu okuva mu Uganda ne Kenya abaleeta ekiteeso kya semateeka w'eggwanga lya Tanzania era nebawaayo okuzuula kwabwe eri akakiiko ka Warioba mu 2015, wansi w'enzikiriza ya Kituo cha Katiba.[11] Yeeyali ssentebe wekibiina kya Actiona for Development,ekibiina ekyali kikulembera mu kulwanirira abakyala, ng'era y'omu kuba kitabndikawo[12]
Mu 1990, yeeyali omumyuka w'akulira olukungaana lwa Pan-African Congress olwategekebwa mu Kampala. Abadde omusomesa ku by'amateeka wamu n'olulimi olungereza ku Chartered Institute of Bankers, wamu ne mu Kampala. Yakuguka mu by'amateeka, Matembe era awandiise ebintu eby'enjawulo nga kuno kwekuli obutabo gamba nga; Miria Matembe: Gender, Politics, and Constitution Making in Uganda, nga kakwata ku bakyala abali mu by'obufuzi.
Mu gwekumi mu 2006, Matembe, yasomesa ku nsonga z'abakyala, entalo, emirembe mu kuzimba eddembe nga ono yali ku Yunivasite ye San Diego, kutendekero lya Joan B. Kroc Institute for Peace & Justice Distinguished Lecture Series.[13]
Mu 2011, yatuusa obubaka obwali bwetagisibwa ku mikolo egyali egy'okuminoogumu egya Sarah Ntiro Lecture and Award, nga gyali gitegekeddwa ku woteeri ya Grand Imperial mu Kampala e Uganda eri abakyala abbo abaagala okubeera aboolesi b'emisoni oba abakoze okulaba nga bayamba omwana omuwala okulaba nga asoma webaali mulukungaana lwa Forum for African Women Educationalists (Fawe) omukolo ogwali gutegekeddwa ng'era kulwa bawala abatalina buyambi. Engule gyebasinga okutekako esira gyagira mumitendera ebbiri; okuli eya bakyala abaawukana ku balala eyali ey'abakyala abakola ennyo okulaba nha batumbuula emisomo gy'omwana ow'obuwala, n'eweebwa akira kubalal eyaweebwa abakyala abawa ekifanannyi ekirungi eri omwana omuwala.[14]
Matembe y'omu kubaasimibwa olw'okulwana okulaba nga batumbuula okusoma kw'omwana omuwala, yeebaza Katonda bweyali akiriza okutwala ekirabo kino. Yagamba nti obutamannya n'obutabeera nabikozesebwa zeezaali ezimu kunsonga ezaali ziremesa okulakulana kw'eby'enjigiriza by'omwana ow'obuwala .
Obutabo bw'afulumiza
kyusa- Okulwanirira eddembe n'obwenkanya kuliriddwaamu olukwe (The Struggle for Freedom and Democracy Betrayed).[15]
- Abakyala mu maaso ga Katonda: okuzuula ebikwatako ebyabula (Women in the eyes of God: reclaiming a lost identity. .[16]
- Miria Matembe: Ekikula ky'abantu mu By'obufuzi wamu n'okukola ssemateeka wa Uganda (Gender Politics and Constitution Making in Uganda)[17]
Ebyamuweebwa okumusiima
kyusa- Ekitiibwa ky'okufuna Diguli ey'okusatu mu mateeka okuva ku University of Victoria mu 2007
Famire ye
kyusaMukyala mufumbo ng'era bbaawe ye Nekemia Matembe ng'era balina abaana abalenzi bana bebaatuuma; Godwin, Gilbert, Gideon, wamu ne Grace.[18]
Ebijuliziddwaamu
kyusa- ↑ http://www.africa-union.org/organs/pan%20african%20parliament/List%20of%20Members%20pap.pdf
- ↑ https://www.ned.org/docs/Reagan-FascellDemocracyFellowsProgramTenthAnniversaryTribute.pdf
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-07-24. Retrieved 2024-04-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.independent.co.ug/ccedu-coordinator-crispin-kaheru-welcomes-miria-matembe-then-resigns/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/matembe-retires-in-two-minds-3226096
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-06-21. Retrieved 2024-04-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.salzburgglobal.org/people?userID=2510&eventID=768
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-06-21. Retrieved 2024-04-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/matembe-retires-in-two-minds-3226096
- ↑ https://dailyexpress.co.ug/2021/01/22/miria-matembe-loses-to-nrms-waako-in-elderly-mp-elections/
- ↑ https://tanzaniaelectionswatch.org/2020/09/23/hon-dr-miria-matembe/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/uganda-50/miria-matembe-speaking-out-loudly-for-justice-and-fairness-1520052
- ↑ https://digital.sandiego.edu/cgi/viewcontent.cgi?article=1005&context=lecture_series
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/awarded-for-helping-the-girl-child-1489530
- ↑ https://www.amazon.com/Struggle-Freedom-Democracy-Betrayed-Government-ebook/dp/B084F7PWT6
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/501315188
- ↑ https://go.gale.com/ps/anonymous?id=GALE%7CA100200393&sid=googleScholar&v=2.1&it=r&linkaccess=abs&issn=02554070&p=AONE&sw=w
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/matembe-on-her-love-life-i-m-not-a-factory-to-be-managed-1724052