Miria Obote
Miria Obote Kalule; yazaalibwa 16 Ogusooka 1936) munnabyabufuzi bya Uganda eyaliko omukyala w'omukulembeze owa Uganda, era nnamwandu w'eyaliko Ssabaminisita era Pulezidenti Milton Obote. Yavuganyaako mu kulonda kwa Uganda okwawamu mu 2006.[1]
Ebyafaayo n'okusoma
kyusaMiria Kalule yazaalibwa Kawempe, mu maka ga Bulasio Kalule eyali omukozi wa gavumenti ng'akola mu kitongole ky'okuddaabiriza enguudo mu minisitule y'emirimu n'eby'entambula ne mukyala we Malita.
Yasomera ku Gayaza High School n'oluvannyuma mu Makerere University.
Miria Obote yakomawo mu Uganda ng'ava e Zambia mu Ogw'ekkumi 2005, Oluvannyuma lw'emyaka 20 ng'ali mu buwaŋŋanguse, okuziika omwami we. Nga wayiseewo emyezi ebiri, yalondebwa ng'omukulembeze w'ekibiina kya Uganda People's Congress (UPC) era nga anavuganya ku ntebe y'obwa Pulezidenti mu kulonda okwaddako. UPC yatandikibwawo omwamiwe era n'akikulembera okutuusa lwe yafa. Yafuna ebitundu 0.6% ku bululu mu kulonda kw'obwa pulezidenti nga 23 Ogwokubiri 2006, okwawangulwa pulezidenti eyali mu buyinza, Yoweri Museveni.
Obulamu bwe
kyusaMiria yafumbirwa Milton Obote mu Ogwekkumi n'ogumu 1963 era bazaala abaana bana omuli Jimmy Akena, omubaka wa Palamenti akiikirira munisipaali ya Lira.
Ebijulizidwa
kyusa- Walking in Obote's shadow, The Monitor,December 21,2005.
- ↑ (855–886).
{{cite journal}}
: Cite journal requires|journal=
(help); Missing or empty|title=
(help)