Monica Azuba Ntege yyazaalibwa Monica Azuba munayuganda yinginiya era munnabyabufuzi. Yali minisita w'emirimu n'eby'entambula mu kabineeti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 6 Ogw'omukaaga 2016 ng'adda mu kifo kya John Byabagambi, eyafuuka Minisita wa Karamoja. Katumba Wamala eyamuddira mu bigere nga 14 Ogwekumunebiri 2019.

Ebyafaayo n'okusoma

kyusa

Monica Azuba yazaalibwa mu bitundu ebye Busoga, mu kitundu eky'obuvanjuba bwa Uganda, nga mu 1954. Yasomera mu ssomero lya Gayaza High School ku madaala aga O ne A-Level, n'amaliriza mu 1973. Yayingira Makerere University mu 1974, n'attikirwa mu 1978 ne Bachelor of Science in Civil Engineering.

Emirimu

kyusa

Yakolerako mu Uganda Commercial Bank oluvannyuma lw'okuttikirwa okuva e Makerere mu 1978. Standard Bank of South Africa bwe yaligula mu 2002, yasigala n'ekitongole ekyo, n'alinyisibwa ku kifo ekya Facilities Manager mu Stanbic Bank Uganda Limited. Abadde ku kakiiko ka Uganda National Roads Authority okuva mu Ogwomukaaga 2014.[1] Nga 6b Ogwomukaaga 2016, yalondebwa nga Minisita w'emirimu n'eby'entambula.

Emirimu nga Minisita w'emirimu n'eby'entambula

kyusa

Ogumu ku mirimu gye yasooka okuweebwa amangu ddala ng'amaze okukuba ebirayiro bye nga minisita Ow'emirimu n'eby'entambula, yali ya kwekenneenya butya gavumenti ya Uganda gy'egenda okuzza obuggya ekitongole ekya Uganda Airlines. Kampuni ekola ku ntambula z'ennyonyi mu ggwanga zagulwawo mu 2001 kubanga yaliwo naye nga tefiibwako olw'okulowooza nti yali tekola magoba.

Wabula, mu 2013, ekiteeso eky'okudaabulula ekitongole ky'ebyennyonyi kyakolebwa okusobola okwongeza ku muwendo gw'abalambuzi mu Uganda awamu n'okwongera ku bungi bw'abakozi abeekebegya abantu n'emigugu awamu n'okulaba ng'ebigibwa mu kkolero ery'amafuta byeyongera. Ebitongole ebyali ebisaale nga minisita y'e Sentebe wabyo, kwaliko abakiise okuva mu Minisitule ey'enguudo n'eby'entambula, eya Uganda Development Corporation, Civil Aviation Authority Uganda, eya minisitule ey'eby'enguudo, amakolero n'obwegassi, minisitule ey'eby'ensimbi,okuteekerateekera n'enkulaakulana n'endala nyingi ezasisinkana nezikola okusalawo. Ebiteeso bino byaweerezebwa mu Kabineeti okukakasibwa nga tebinaba kuteekebwa munkola.

Obulamu bwe

kyusa

Ntege mufumbo. Ye muzannyi nantamegga ow'omupiira gwa goofu era awangudde empaka nnyingi mu tonamenti ez'okumitendera egy'eggwanga awamu n'ez'ebitundu. Mu biseera ebyayita, yaweereza ng'omuwanika w'ekitundu owa All Africa Challenge Trophy mu golf y'abakyala.

Laba era

kyusa

Ebyawandiikibwa

kyusa
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named App1