Monica Musenero Masanza munnayuganda era nga kiteeberezebwa okuba nga yazaalibwa mu 1965, musawo wa bisolo, musawo wa buwuka era nga mu kutangira obulwaddeakwata kisooka. Ono akola nga eyebuuzibwako mu kutangira endwadde mu gavumenti ya uganda era akola nga omuwabuzi wa pulezidenti wa uganda ku kubalukawo kw'endwadde mu ggwanga. Emabegako ye yali akulira okunoonyereza ku ndwadde ezireetebwa obuwuka era nga ye amyuka Komisona w'okunoonyereza mu Minisitule y'eby'obulamu mu Uganda.[1] [2] Akoze mu bifo ebiwerako emabegako mu kulwanyisa ekilwadde kya Ebola mu Uganda, Democratic Republic of Congo ne mu nsi y'obugwanjuba bwa Afirika eya Sierra Leone.[1]

Obuto bwe n'obuyigirize bwe.

kyusa

Musenero yazaalibwa mu disitulikiti katieyitibwa Butebo Disitulikiti (eyali ekitundu kya Pallisa Disitulikiti), mu Buvanjuba bwa Uganda.[3] Nga amaze okusoma pulayimale, O level ye yagisomera ku Bubulo Girls Secondary School. Yasomera Alevel ku Nabumali High School era n'atikkirwa ne Dipuloma y'okusoma kw'awagggulu mu 1987.[4]

Bwe yava awo n'aweebwa ekifo okusomera e Makerere University, Yunivasite ya Uganda esinga obunene n'obukulu, eno yatikkirwa ne Ddiguli mu busawo bw'ebisolo. Oluvannyuma, yavuna Ddiguli ey'okubiri mu bulamu bw'abantu e Makerere University. Yakola ne ddiguli ya Masters mu kulwanisa obuwuka obuleeta endwadde okuva mu Cornell University mu 1997.[5]

Emirimu gye

kyusa

Mu 2008, Musenero yafuna omulimu mu African Field Epidemiology Network (AFENET) ekiri mu Kampala Uganda, nga eno yali yebuuzibwako ku ndwadde ezibalukawo ate nga ye Senior Program Officer. Mu 2011, yakuzibwa ku bwa Regional Epidemiology Director, yakola mu kifo ekyo okutuusa mu 2013. Mu 2014 yakola nga eyeebuuzibwako mu Kitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna mu biseera by'akawuka ka Ebola mu Sierra Leone. Awo we yava n'apangisibwa nga Principal Epidemiologist ate nga Amyuka Komisona wa Epidemiology and Surveillance mu kitongole ky'eby'obulamu mu Uganda mu 2015.[6]

Ebirala

kyusa

Mu 2014, mu kiseera ky'okubalukawo kwa Ebola mu Guinea, Liberia ne Sierra Leone, nga Musenero amaze emirimu gye mu Kitongole ky'eby'obulamu mu Uganda, yaddamu n'ayitibwa okukola nga omuwabuzi mu West Africa, olw'obumanyirivu bwe yalina mu kukwasaganya ekirwadde kya Ebola.[7][8]

Mu 2020 nga atandika, nga Uganda tennaba kufuna mulwadde wa COVID-19 asooka, Dr. Musenero yalondebwa nga omuwabuzi wa pulezidenti wa Uganda ku bikwata ku kirwadde ekyo. Yakulemberamu ekibiina ky'abakugu abaategeka engeri ne bawabula pulezidenti ku kiki ekirina okukolebwa.[9][10]

Amaka

kyusa

Monica Musenero yafumbirwa Micheal Masanza era bombi balina ezzadde lya baana basatu.[11]

Laba bino

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa

 

  1. 1.0 1.1 https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision_(newspaper)
  2. https://www.monitor.co.ug/News/National/preventive-healthcare-expert--Ndejje-University-Musenero/688334-5607428-1436dvuz/index.html
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision_(newspaper)
  4. https://www.monitor.co.ug/artsculture/Heart-to-Heart/Dr-Musenero-fighting-Ebola-Sierra-Leone/691230-5297270-vt1aaoz/index.html
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-24. Retrieved 2021-08-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.linkedin.com/in/monica-musenero-masanza-26769565/?originalSubdomain=ug
  7. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision_(newspaper)
  8. https://www.monitor.co.ug/artsculture/Heart-to-Heart/Dr-Musenero-fighting-Ebola-Sierra-Leone/691230-5297270-vt1aaoz/index.html
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision_(newspaper)
  10. https://www.monitor.co.ug/artsculture/Heart-to-Heart/Dr-Musenero-fighting-Ebola-Sierra-Leone/691230-5297270-vt1aaoz/index.html
  11. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision_(newspaper)
kyusa