Monicah Amoding (yazaalibwa nga 30 Ogwekumineemu mu mwaka gwa 1981) Munnayuganda ow'ebyobufuzi, munnamateeka era social worker, eyaweereza nga omubaka omukyaala akiikirira Disitulikitti y'e Kumi, mu Paalamenti ya Uganda, (2016–2021), nga mmemba w'ekibiina eky'obufuzi ekiri mu ntebe ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement].[1]

Eby'ayita n'emisomo kyusa

Amoding yazaalibwa mu Gwekuimneemu 1981. Yasomera Namilyango Girls Primary School mu Disitulikitti y'e Mukono, ne bamutikira ne Primary Leaving Examination Certificate okuva eyo mu mwka gwa 1993. Yagenda okufuna emisomo gye ejya O-Level okuva mu somero lya Tororo Girls School, ne bamutikira ne Uganda Certificate of Education, mu mwaka gwa 1997. Oluvanyuma lw'emyaka ebbiri, yafuna Uganda Advanced Certificate of Education okuva e Makerere High School, nga amaliriza emisomo jye ekjya A-Level.[1]

Alina diguli z'obusomi ssattu. Diguli e esooka ye Bachelor of Arts mu Social Sciences, eyamuweebwa Yunivasitte y'e Makerere mu mwaka gwa 2004. Diguli ye ey'okubiri Master of Gender Studies era eyamuweebwa Yunivasitte y'e Makerere mu mwaka gwa 2013. Diguli ye eyokussattu Diguli y'ebyamateeka gye yafunira e Makerere mu mwaka gwa 2018.[1]

Amoding era alina certificate bbiri, emu ya Certificate in Leadership, eyamuweebwa e ttendekero lya Uongozi Leadership Institute, Dar es Salam. Endala ye ya Certificate in Feminist Leadership, jye yafunira mu ttendekero lya African Women Leadership Institute, Accra.[1]

Emirimu kyusa

Nga tanatandika by'abufuzi kyusa

Okuva mu mwaka gwa 2006 okutuusa 2011, Amoding yalina obuvunaanyizibwa wa bweru w'ekisaawe ky'ebyobufuzi. Yakola nga Offiisa wa Media n'ebyempulizigannya ku CEDOVIP, ekitongole ky'obwannakyeewa, okuva mu mwaka gwa 2006 okutuusa 2007. Oluvanyuma yagenda okukolera Uganda Women Parliamentary Association (UWPA), ogwasooka nga offiisa w'Enkola n'Ebyempulizigannya okuva mu mwaka gwa 2008 okutuusa 2009; era olwamala nga Coordinator wa Pulogulaamu, okuva mu mwaka gwa 2009 okutuusa 2010.[1]

Eby'obufuzi kyusa

Mu mwaka gwa 2011, Amoding yafuuka mmemba wa Uganda's unicameral parliament, ng'akiikirira "abavubuka". Mu mwaka gwa 2016, yalondebwa nga omukyaala akiikirira Disitulikitti y'e Kumi.[1]

Mu mwaka gwa 2015, yatandikawo eky'amanyikibwa nga "Sexual Offences Bill 2019".[2] Nga guyisibwa mu bukiiko bwa Paalamenti, omukago gwayisibwa Paalamenti mu Gwokutaano 2021, yadde abawangizi n'abavuganya enkola y'amatteeka tebaali basanyuffu n'ekyaali kiyisibbwa, ku nsonga ya ki ekyaali kiteekedwaamu era ne ki ekyaali kirekeddwa wa bweru.[3] Mu nkomerero, omukago guyinza obutafuuka tteeka singa Pulezidenti agaana okusaako omukonot. Ensonga ssattu lwaki ayinza obutasaako mukono (a) United States, a major benefactor wa Gavumentti ya Ugandan ewakanya ezimu kung'abirira eziri mu mukago (b) Omukago guluubirira kufuna bingi nnyo, zikyankalanya abantu bangi nyo abandi wagidde era (c) Tewali political dividend. Okulonda kwa 2021 kwaggwa. Okulonda okudako sikwakubaawo okutuusal 2026.[4]

Ebirala kyusa

Mu kulonda kwa bonna mu mwka gwa 2021, Monicah Amoding yafiirwa entebbe ye ey'omu Paalamenti eri Christine Apolot eyafuna obululu 35,152 ku bululu 29,292 obwa Amoding.[5]

Obulamu bwe kyusa

Mufumbo. Ayagala nnyo okuwandiika, okusoma, okulambula n'okusirika n'alowooza ennyo mu bissera bye eby'eddembe. Alina okwagala okungi mu kulwanirira eddembe ly'abantu abagwa mu bibinja ebisosolebwa , okwettaba mu bulungi bwansi n'okukolagana n'abantu ba bulijjo n'entababuvobwawamu enjjavu.[1]

Laba ne kyusa

Ebijuliziddwa kyusa

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=430 Cite error: Invalid <ref> tag; name "1R" defined multiple times with different content
  2. https://www.newvision.co.ug/articledetails/90281
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/amoding-sexual-offences-bill-mover-speaks-on-gains-misses-3390150
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-hints-at-plan-not-to-sign-sexual-offences-act-3396024
  5. https://www.independent.co.ug/court-dismisses-kumi-woman-mp-vote-recount-application/

Ebijuliziddwa wa bweru wa Wikipidiya kyusa