Moses Ali eyazaalibwa nga 5 ogwokuna 1939 Munnayuganda, Munnabyabufuzi ate nga Munnamagye eyawummula. [1]Ye mumyuka wa Prime Minisita owookubiri era nga y'amyuka akulira ebya bizinensi za gavumenti mu paalamenti.[2] Yakolako mu Kabineti ya Uganda nga Omumyuka wa Prime minisita owookusatu n'omumyuka w'akulira ebya bizinensi za gavumenti okuva mu Gwokutaano 2011 okutuuka mu Gwomukaaga 2016.[3] Yakolako nga Amyuka Prime Minisita asooka okuva mu gwomukaaga 2016 okutuuka mu gwokutaano 2021.[4] Yaliko era abadde Mubaka wa paalamenti akiikirira East Moyo County mu Adjumani Disitulikiti okuva mu 2011.[5]

Ali, Moses.jpg

Obuto bwe n'okusoma

kyusa

Moses Ali yazaalibwa mu Adjumani Disitulikiti, Ekitundu kya West Nile, mu Mambuka ga Uganda. Yazaalibwa nga 5 ogwokuna 1939.[6] Alina Ddiguli mu mateeka (LLB), gye yafunira e Makerere University. Alina ne Diploma mu Legal Practice, okuva mu Law Development Center mu Kampala. Moses Ali alina obumanyirivu okuva mu matendekero g'amagye mu Uganda, Israel ne mu United Kingdom.[7] Musajja Musiraamu.[8]

Emirimu

kyusa

Ali yeetaba mu lutalo lwa Uganda olwaggyako Pulezidenti Milton Obote mu 1971 ne luleeta Idi Amin mu ntebe. Yagenda atyo nga akuzibwa mu biseera bya Republic ya Uganda eyookubiri nga Amin y'afuga eggwanga nga munnamagye ew'effuga bbi. Ali yalondebwa nga Minisita w'eby'enfuna,[9] era yakozesa ekifo kye okutegeka obusiraamu. Kino kyamuwangulira ettutumu mu bantu naye ate kyayongera kweraliikiriza Amin,[10] nga atya nti Ali agezaako kuzimba buwagizi bwa basiraamu mu by'obufuzi.[11] Mu gwokuna 1978, Pulezidenti yategeka olukiiko mu Kampala, gye yagobera ba Minisita abaali batagondera biragiro bye, nga ba maanyi nnyo oba nga ate tebalina bumanyirivu mu bye bakola. Nga avuunaana Minisita w'eby'enfuna okukozesa obubi Bank of Uganda n'okulya enguzi, Amin yakambuwala nnyo mu kwogera kwe era nga yayogerera Ali. Bwe yamanyi nti tasobola kwewolereza, Ali yasalawo alekulire mbagirawo. Yasalawo ave mu Kampala mu kimugunyu mu mmotoka ye n'agenda mu kyalo kyabwe mu kitundu kya West Nile. Bwe yatuukayo, waliwo akabinja k'abatemu ne kamulumba, naye yabawangula nga akozesa emmundu. Ali yakakasa nti okulumbibwa okwo kwali kutegekeddwa komanda wa Uganda Army Yusuf Gowon, nga ono yali mulabe we wadda.[10] Amin yamuggyako ebitiibwa bye eby'amagye byonna.[12]

Enfuga ya Amini bwe yaggwaawo mu lutalo lwa Uganda–Tanzania War mu 1978-1979, Ali yagenda mu buwanganguse mu Southern Sudan, n'afuna obubudamo mu Nimule.[13] Mu myaka gya1980 yakulembera ekibiina kya Uganda National Rescue Front mu kwegugunga okwali kuwakanya okudda kwa gavumenti ya Pulezidenti Milton Obote,[14] n'afuuka omukulu w'olutalo mu Southern Sudan.[10] Nga akozesa obuyinza bwe n'amaanyi ge, Ali yateesa ne Yoweri Museveni eyadda mu ntebe nga Pulezidenti mu nkomerero y'olutalo lw'omunsiko mu 1986. Amagye ge gaayingira mu ga Uganda amaggya era National Resistance Army n'efuuka Uganda People's Defence Force era n'alondebwa nga Major General.[10] Eky'ava mu maanyi g'ekifo kye yafuna mu gavumenti ya Uganda empya, Ali yafuuka mugagga ate nga bamuwuliriramu.[10]

Ali yalinnya ki kifo ky'Amyuka Prime Minisita asooka mu gavumenti ya Museveni. Yakola mu paalamenti ya Uganda okuva mu 2001.[10] Yaddamu n'akuzibwa nga Lieutenant General nga 13 gwokusatu 2003,[15] [16]naye yafiirwa ebifo byombi mu paalamenti n'obwa Minisita mu 2006. Mu 2011, nga alina emyaka 72 yaddamu okufuna ekifo kye mu paalamenti era n'aweebwa obuvunaanyizibwa obupya.[10] Mu mwaka ogwaddako, Ali y'addamu n'akuzibwa ku ddaala lya General mu Uganda People's Defence Force.[17][18] Mu 2016, bwe yamala okulondebwa mu paalamenti, y'addamu n'alondebwa ku bwa omumyuka wa Prime Minisita asooka ate nga ye Mumyuka w'akulira ebya bizinensi za gavumenti mu paalamenti.[19]

  • Cabinet of Uganda
  • Parliament of Uganda

Ebijuliziddwa

kyusa

 

  1. Tegulle, Gawaya (31 July 2012). "General Moses Ali's Promotion: How Did He Earn The Four Stars?". Daily Monitor. Kampala. Archived from the original on 6 September 2018. Retrieved 13 February 2015.
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/final-cabinet-list-jessica-alupo-new-vice-president-3430616
  3. Uganda State House, . (27 May 2011). "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Facebook.com. Retrieved 13 February 2015.{{cite web}}: CS1 maint: numeric names: authors list (link)
  4. Uganda State House (6 June 2016). "Uganda's New Cabinet As At 6 June 2016". Scribd.com. Retrieved 13 June 2016.
  5. POU. "Profile of Ali Moses, Member of Parliament for East Moyo County, Adjumani District". Kampala: Parliament of Uganda (POU). Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 13 February 2015.
  6. Natukunda, Carol (24 April 2013). "Amin Played Moses Ali Against Yusuf Gowon". New Vision. Kampala. Retrieved 13 February 2015.
  7. POU. "Profile of Ali Moses, Member of Parliament for East Moyo County, Adjumani District". Kampala: Parliament of Uganda (POU). Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 13 February 2015.
  8. chrome-extension://efaidnbmnnnibpcajpcglclefindmkaj/viewer.html?pdfurl=https%3A%2F%2Fsemuwemba.files.wordpress.com%2F2010%2F03%2Fnubians-of-east-africa.pdf&clen=2093266&chunk=true
  9. Natukunda, Carol (24 April 2013). "Amin Played Moses Ali Against Yusuf Gowon". New Vision. Kampala. Retrieved 13 February 2015.
  10. 10.0 10.1 10.2 10.3 10.4 10.5 10.6 Template:Sfn Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  11. Template:Sfn
  12. Template:Sfn
  13. Template:Sfn
  14. Natukunda, Carol (24 April 2013). "Amin Played Moses Ali Against Yusuf Gowon". New Vision. Kampala. Retrieved 13 February 2015.
  15. POU. "Profile of Ali Moses, Member of Parliament for East Moyo County, Adjumani District". Kampala: Parliament of Uganda (POU). Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 13 February 2015.
  16. Template:Sfn
  17. Tegulle, Gawaya (31 July 2012). "General Moses Ali's Promotion: How Did He Earn The Four Stars?". Daily Monitor. Kampala. Archived from the original on 6 September 2018. Retrieved 13 February 2015.
  18. Template:Sfn
  19. Uganda State House (6 June 2016). "Uganda's New Cabinet As At 6 June 2016". Scribd.com. Retrieved 13 June 2016.

Ebirlala ebijuliziddwa

kyusa

Ezenyongeza

kyusa