Moses Golola
Golola Moses (Yazaalibwa nga 22 Ogwokutaano 1980) Munnayuganda sereebu,[1][2] musanyusa,[3] nnakinku mu muzannyo gw'ensambaggere, muzannyi wa firimu, asakira abalala, musuubuzi era omuvumbuzi ayogerwako ng'omuntu eyeerandiza yekka.
Newankubadde eby'obuwanguzi bw'azze atuukako mu muzannyo gw'ensambaggere obumu buzze bubuusibwabuusibwa mu mawulire ga Uganda, nga bagamba nti egimu ku mizannyo yagigulirira. Kyokka Golola, atenderezebwa olw'okutumbula omuzannyo gw'ensambaggere mu Uganda (omuzannyo ogwafuna abawagizi abawera mu Uganda).[4][5][6][7][8][9][10][11] Olulwana lwe ne Abdul Qadir Rahim olwaliwo mu 2021 lwe lukyasinze okukung'aanya abawagizi abangi ng'oggyeeko emipiira gya ttiimu y'eggwanga eya Uganda cranes.[12][13]
Golola y'omu ku bannabyamizannyo abasinga okugobererwa ku mitimbagano mu Uganda.[14] Abawagizi be bazze bakola eng'ombo ez'enjawulo nga basinziira ku bigambo by'azze ayogera.[15] omuli n'obulaga nga Golola bamukuba.[16] Golola yaweebwa ekifo mu filimu ya Uganda eya ssekukkulu mu Kampala.[17]
Golola amanyikiddwa olw'ekikula kye mu kusanyusa n'obukugu mu kuwamba omubabiro mu bantu[18][19][20] nga kino kyamuyamba okutunda omuzannyo gw'ensambaggere abantu ne bagumanya mu Uganda era n'atandika okugobererwa abantu bangi.[21][22]
Golola nnantameggwa mu muzannyo gw'ensambaggere mu East ne Central Africa[23] oluvannyuma lw'okuwangula omuzannyo ogw'aleka abamu nga bawakanya obuwanguzi bwe lwe yalwana n'Omuhungary, Andras Nagy nga 9 Ogwekkumineebiri 2011.[24][25] Golola yafuna obutakkaanya n'eyali maneja we mu kiseera ekyo, Patrick Kanyomozi, ng'agamba nti Kanyomozi yali amulyazaamaanyizza ssente ze obukadde 30 ezaali zivudde mu lulwana lwe.[26] Obutakkaanya buno oluvannyuma lwabaviirako okwawukana ne Kanyomozi olwo Golola n'aleeta muganda we okukola nga maneja we.[27]
Ebya Golola ne Umar Semata
kyusaUmar Semata Munnayuganda azannya omuzannyo gw'ensambaggere ng'asinziira mu ggwanga lya Thailand. Oluvannyuma lw'emyaka nga 5 nga Semata atandise okumanyika abantu, kyaleetawo abawagizi okwekutulamu ng'abamu bawagira Golola ate abalala Semata. Moses Golola alina obumanyirivu mu nnwaana ey'ensambaggere ey'ekika kya K1-Style era eno gy'akubisizza buli Munnayuganda azze amweŋŋanga omuli Titus Tugume, Abu Kikenwa[28] n'abalala bangi. Semata ye alwanira mu nnwaana ya Muay thai eyawukanako n'eya Golola eya K1.
Kyokka okuwakana ku ania asinga entikko yaakwo yaliwo mu kiro kya nga 13 Ogwekkumi 2018 ababiri bano bwe baakwataganako mu lulwana olwali ku Freedom City Mall. Olulwana lwagenda okuggwa nga Semata awangudde Golola mu ngeri etannyonnyolwa bulungi.[29] N'okutuusa kati, Golola akyagamba nti teyawangulwa mu lulwana luno kubanga omuzannyo tegwategekebwa ku ngeri ze baali bakkaanyizzaako nga baddiifiri baalukola nga lwa myetooloolo musanvu mu kifo ky'etaano gye baali bakkaanyizzaako.[30]
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ http://www.monitor.co.ug/Sports/SportsColumnists/MarkSsali/There-is-more-substance-to-Golola-s-success-story-/-/805430/2238728/-/c4ud4y/-/index.html/
- ↑ http://www.ekimeeza.com/2011/12/10/the-golola-moses-phenomenon-he-loses-fight-but-takes-belt-home-what-in-the-world-happened/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-16. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.monitor.co.ug/Sports/SportsColumnists/MarkSsali/There-is-more-substance-to-Golola-s-success-story-/-/805430/2238728/-/c4ud4y/-/index.html/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Sports/SportsColumnists/MarkSsali/There-is-more-substance-to-Golola-s-success-story-/-/805430/2238728/-/c4ud4y/-/index.html/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/What-Golola-s-debacle-shows-about-Ugandans/-/691232/1443752/-/13vrxuwz/-/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20140714233736/http://www.thenotice.co.ug/the-rise-and-fall-of-golola-moses/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-18. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-18. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/How-Golola-moses-made-kickboxing-famous/-/691232/1745654/-/uu6p2e/-/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Sports/SportsColumnists/MarkSsali/There-is-more-substance-to-Golola-s-success-story-/-/805430/2238728/-/c4ud4y/-/index.html/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/How-Golola-moses-made-kickboxing-famous/-/691232/1745654/-/uu6p2e/-/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.ekimeeza.com/2011/12/10/the-golola-moses-phenomenon-he-loses-fight-but-takes-belt-home-what-in-the-world-happened/
- ↑ http://muwado.com/golola-moses-a-stunning-ko-and-trip-down-memory-lane/
- ↑ http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&id=19333:youtube-turns-ugandans-into-instant-celebrities&catid=42:sizzling-entertainment&Itemid=74
- ↑ http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&id=19333:youtube-turns-ugandans-into-instant-celebrities&catid=42:sizzling-entertainment&Itemid=74
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Sports/SportsColumnists/MarkSsali/There-is-more-substance-to-Golola-s-success-story-/-/805430/2238728/-/c4ud4y/-/index.html/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/LifeStyle/Entertainment/-/812796/1175504/-/4atfsi/-/
- ↑ http://allafrica.com/stories/201111071305.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/LifeStyle/Entertainment/-/812796/1175504/-/4atfsi/-/
- ↑ http://www.newvision.co.ug/D/120/453/723964
- ↑ http://allafrica.com/stories/201101101148.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/314773-Golola-declared-winner-amid-controversy.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/314799-judges-speak-out-on-andras-golola-scandalous-fight.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/314799-judges-speak-out-on-andras-golola-scandalous-fight.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/How-Golola-moses-made-kickboxing-famous/-/691232/1745654/-/uu6p2e/-/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-16. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-16. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-07. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)