Moses Nsereko
Moses Nsereko (yafa nga 15 Ogwomwenda 1991) yali Munnayuganda omusambi w'omupiira, maneja, era omukungu. Mu kaseera ng'akyazannya omupiira, yali azannya nga Omuwuwutanyi, yazannyira ko Ttimu y'eggwanga mu mpaka z'ekikopko kya Africa ekya 1976 ne 1978 African Cup of Nations.[1]
Kiraabu ze yazannyira n'emirimu gy'eyakola nga Maneja
kyusaNsereko yegatta ku Kampala City Council (KCC) nga ball boy mu myaka gya 1960, naye olw'olumu yazanyiranga mu ttiimu ya kiraabu ey'okubiri.[2] Mu 1970 lweyasobola okwambala omujoozi "omumanyifu ennyo" ogwa kyenvu ogwa KCC. Mu 1971, yali mupya era omutandiisi mu tiimu ya KCC.[2] Nga yateeebwamu ng'omzannyi w'oluuyi lwa ddyo omutendesi Jaberi Bidandi Ssali, Nsereko yamala n'ateekaebwa mu kifo kyeyali ayagala eky'omuzibizi w'omumakati.[2] Ng'omuzannyi wa KCC, yayambako kiraabu mu kuwangula liigi ya Uganda eya Uganda National League mu 1976 ne 1977, saako n'emukikopo kya CECAFA Club Cup mu 1978.[3]
Mu 1979, Nsereko yatuumibwa omuzannyi ng'ate mutendesi wa KCC oluvanyuma lw'okugenda kwa Bidandi Ssali.[2] Ng'omuzannyi era nga mutendesi omukulu ku KCC, Nsereko yawangula eziwerako mu Uganda Super League mu 1981, 1983, ne 1985, ne mu Uganda Cup eya 1979, 1980, 1982, ne 1984. Oluvannyuma lwa sizoni etaagenda bulungi eya 1986, yasalawo okulekulira mu 1987.[2]
bye yakola mu mawanga g'ebulaaya
kyusaNsereko yali muvubuka azaanyira mu mawanga g'ebweru nga tannaba kwegata ku Ttiimu y'eggwanga Uganda. Yalabikako emirundi munaana ne ggoolo emu gyeyateebera Uganda mu mpaka z'ekikopo kya africa ekya 1976 ne 1978 African Cup of Nations, era nalondebwa ng'omuzannyi wa ttiimu owa tonamenti. Nsereko yawangula ekikopo kya CECAFA Cup mu 1973, 1976, ne 1977;[3] Yasubwa penati ez'okumanya ani eyali asinze mu kuwanula Tanzania mu mpaka za 1974 .[2]
Emirimu gy'eyakola ng'aweereza ng'omukungu
kyusaMu Gwokuna 1989, Nsereko yalondewa ng'omukungu omukulu mu kitongole ky'omupiira ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA). Wansi w'obukulembeze bwa pulezidenti John Semanobe, yakola okuteekawo obukoddyo mu kusamba omupiira. Nsereko yaweereza mu kifo kye mu FUFA okutuusa lw'eyafa mu 1991.[2]
Okufa kwe
kyusaNga 15 Ogwomwenda 1991, Nsereko yatemulwa mu bukambwe wabweru wa makage mu kalina z'e Wampewo mu Kololo, Kampala.[4] Bamukwata mundu banno tebatwalibwa mu mbuga z'amateeka. Nsereko yaleka bannamwandu babiri n'abaana musanvu.
Okufa kwa Nsereko kw'aweereza eky'ekango ky'amaanyi mu kisaawe ky'omupiira gwa Uganda n'abawaguzi ba KCC okutwalira awamu.
Ebikopo bye y'awangula
kyusaKampala City Council
- Uganda Super League: 1976, 1977, 1981, 1983, 1985
- Uganda Cup: 1979, 1980, 1982, 1984; Mu kifo eky'okubiri: 1983, 1985[3]
- CECAFA Club Cup: 1978[3]
Uganda
- CECAFA Cup: 1973, 1976, 1977; Mu kifo eky'okubiri: 1974
Ye ng'omuntu
- African Cup of Nations Ttiimu esinze mu Tonamenti: 1978
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ https://www.besoccer.com/player/moses-nsereko-984433
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-03. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 3.0 3.1 3.2 3.3 "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-03. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://nimsportuganda.com/remembering-ugandas-slain-sports-personalities/
Template:1978 African Cup of Nations Team of the Tournament