Okuva(Motion)

Okuva kye kigambo ky'Oluganda ekivvuunula "motion".Mu butuufu mu bwengula buli kintu kiri mu "kuva".Ne atomu ezizimab obutaffaali bw'omubiri gwo ziri mu kuva nga zijugumira , ensonga lwaki omubiri gwo gubuguma.

Omugendo(continuous motion) kikwata ku kuva okweyongerayo(continuous motion).N'olwekyo omugendo nakwo kuva(motion)naye si buli kuva nti guba mugendo kubanga n'okuba nti obuziba(atomu) eziri mu ntebe kw'otudde zijugumira nakwo kuva naye si tezikola mugendo.Tuyinza okwogera ku

    (i) omugendo gw'ekitangaala(Light ray)
    (ii) Omugendo gw'amasannyalaze(electric Current). 
    (iii) Amasannyalaze nga omugendo gw'obusannyalazo(electricity as the movement/motion or flow  of electrons)

Manya  : Mu kuvvuunula okwa sayansi wewale okuvvuunula butereevu mu mbeera ezimu kubanga amakulu gayinza obutavaayo bulungi .Togamba "mukulukuto gwa masannyalaze".Gamba "omugendo gw'amasannyalaze" okutegeeza "electric current".

Kati nno tuyinza okwogera ku "amateeka ga Newton ag'Okuva"(Newton's Laws of Motion)ne kalonda yenna akwata ku kuva kw'ebintu(the Motion of things).

"Okuva" kw'ebintu (the motion of things) tukituseeko nga tusalira(clipping) akagambululo(phrase) "okuva mu kifo"(to move from one place to another).