Nsereko Muhammad.jpg

Muhammad Nsereko mukiise mu palamenti ya Uganda ataalina kibiina kya byabufuzi, ng'era looya akiikiridde konsitituweensi ya divioni ya Kampala eya wakati okuva mu 2011.[1]

Ebimukwatako n'eby'enjigiriza

kyusa

Yazaalibwa nga 25 Ogwomunaana mu 1981. Yasomera ku "Buganda Road Primary School" eby'enjigiriza bye ebisooka, n'amaliriza 1995. Oluvannyuma yagenda ku Kibuli Secondary School, gyeyamaliriza S4 mu 1999. Ate S6 n'agisomera ku "Kawempe Muslim Secondary School", gyeyamalira mu 2002.[2]

Mu 2005, yatikirwa ne dipulooma mu by'amawulire, okuva kutendekero lya "International Institute of Business and Management Studies" (IIBMS). Mu mwaka ogwaddako, yatikirwa ku yunivasite y'e Makerere, ne diguli mu by'amateeka. Mu 2007 n'aweebwa dipulooma mu by'okwenyigira mu by'amateeka okuva kutendekero lya Law Development Centre.[2]

Obumannyirivu bw'alina mu by'emirimu

kyusa

Nsereko mukugu era looya omuwandiise ng'era y'omu ku ba memba b'ekibiina ekiyitibwa Uganda Bar. Yakolerako mu kibiina ekigata ba looya ekya "Nsereko, Mukalazi and Company Advocates", okuva mu 2007. Yawerezaako nga ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku by'ettaka mu masekati ga Kampala okuva mu 2006 okutuusa mu 2010.[2]

Obulamu bwe mu by'obufuzi

kyusa

Mu 2011, Nsereko yeesimbawo ku bwa konsitituweensi ya masekati ga Kampala ng'agidde ku tikiti y'ekibiina ekiri mu by'obufuzi ekya National Resistance Movement (NRM), n'awangula.[1] Mu palamenti ey'omwenda, okuva mu 2011 okutuusa mu 2016), yatnadika okuvumirira engeri NRM gyeyali efugamu eggwanga. Yanokolayo ebitundu eby'enjawulo byeyali takiriziganya nabyo wekyatuuka ku kibiina kino, omwali (a) okukyusa ekibira ky'e Mabira batandika okukirimiramu ebikajjo (b) okugyawo eky'okuta abantu ku kakalu ka poliisi ku misango egimu (c) yayolesa obukyayi eri obuli bw'enguzi mu kibiina ekiri mu buyinza (d) yavumirira eky'abavubuka b'eggwanga okubeera nga tebalina mirimu (e) awagira eky'okukomyawo ekomo ku bisanja kuntebbe ly'obwa pulezidenti ekyagibwawo mu 2005.[3]

Okugyeema kwe eri ekibiina kya NRM, kyamuviirako okugobwa mu kibiina kino mu Gwokuna mu 2013, ng'ali wamu n'abakiise ba palamenti abalala basatu. Bana batuuka okuyitibwa ''abakiise abayekera''.[4] Mu Gwomwenda 2013, ekooti etaputa semateeka yategeeza ku kawayiro 4–1, nga ababaka abana webaalina okuva mu palamenti, paka ng'ekooti y'emu esazeewo oba basigale.[4] Oluvannyuma lw'enaku satu, nga 10 Ogwomwenda 2013, kkooti enkulu neetegeeza mu kawaayiro 6–1 nti abakiise bano basigale mu palamenti okutuusa nga kkooti etaputa ssemateeka emaliriza okusalawo kwayo oba basigale.[4] Oluvannyuma nga 12 Ogwokubiri mu 2014, kkooti etaputa ssemateeka yakisalawo nti ababaka abana webalina okwamuka palamenti.[4] Okusalawo kuno kwakyusibwa kkooti enkulu nga 30 Ogwekumi mu 2015, nga wano Nsereko ne bane webadira mu palamenti nga tebalina kibiina kyabyabufuzi kyebeesimbyeemu.[5][6]

Muhammad Nsereko yaddamu n'alondebwa mu palamenti ey'ekumi okuva mu 2016 okutuuka mu 2021, nga yali talina kibiina kyagiddemu ng'era ye mukulembezze awakanya enkyuka kyuka munoongolesereza mu semateeka n'okugyawo ekomo ku bisanja kuntebbe ly'obwa pulezidenti.[7]

Ebijuliriziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2017-10-11. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 2.2 http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=188
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-26. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 http://www.monitor.co.ug/News/National/-Rebel--MPs-thrown-out-of-Parliament/688334-2216438-146yufiz/index.html
  5. http://www.monitor.co.ug/News/National/Jubilation-court-re-instates-rebel-MPs/688334-2936046-67w2ji/index.html
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2018-03-08. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-19. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ewalala w'oyinza okukebera

kyusa