Mukono Town munisipaali mu Disitulikiti y'e Mukonomu central region of Uganda . Tawuni eno eddukanyizibwa Town Council y’e Mukono. Nga era Ekitebe kya disitulikiti kisangibwa mu Tawuni ino. [1]

Ekifo

kyusa

Munisipaali y'e Mukono eri ku kilometers 21 ebuvanjuba bw'e kibuguba kye Kampala ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja. [2] Mu bukiikakkono bwakyo kigabana ensalo ne kalagi, mu buvanjuba kigabana ne kira tawuni, Lake Victoria mu bukiikakkono, ne Lugazi mu buvanjuba. munisipali eno eri mu kilomiters 24.5 (15 mi) mu buvanjuba bw'amassekati ga disitulikiti ya buzinensi Kampala, nga kino kye kibuga kya uganda ekikulu era ekikyasinze obune mu gwanga lyona.[3] kino kiteberezebwa okubeera mu kilomrtres 25 (16 mi), mu bugwanjuba bwa Lugazi, okulirana disitulikiti yaBuikwe .[4]

Ekibuga kino kiweza square kilometres 31.4 (12.1 sq mi) y’obuwanvu bw’ettaka. endagiriro ku maapu eza Mukono ziri 00 21 36N, 32 45 00E (Latitude:0.3600; Longitude:32.7500). [5] Mukono Town etudde ku buwanvu bwa 1,246 metres (4,088 ft), waggulu w’obugulumivu bw’ennyanja obutegeeza . [6]

Ebikwata ku bungi bw’abantu

kyusa

Mukono y'ekimu ku bitundu bya Uganda ebisinga okukulira ku sipiidi eya waggulu. [7] Okubala abantu mu ggwanga mu 2002 kwalaga nti abantu b’omu kibuga kino bakunukiriza emitwalo 46,506. Mu mwaka gwa 2010, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kyabalirira nti abantu bano baali bakunukiriza emitwalo 57,400. Mu mwaka gwa 2011, UBOS yabalirira nti omuwendo gw’abantu mu makkati g’omwaka gwali emitwalo 59,000. [8] Nga 27 August 2014, okubala abantu mu ggwanga kwalaga omuwendo gw'abantu mukibuga kino nti guli 162,710. [9]  Template:Historical populations

Ensengeka y’ekitongole

kyusa

Enzirukanya ya Munisipaali y’e Mukono egabanyizibwamu (a) ebyobufuzi nga bino bikulirwa Meeya, (b) eby’ekikugu nga bino bikulirwa Town Clerk eby’amateeka, nga bino bikulirwa Sipiika w’olukiiko lw’ekibuga . Olukiiko luno kye kitongole eky’oku ntikko ekikola enkola ezenjawu n'amateeka ekibuga kwe kitambulira. Kirimu bakansala abalonde abawereraddala 26. Abakiise ku lukiiko lw’ekibuga baweereza ebisanja by’emyaka ena. Meeya w’ekibuga kino alondebwa ku kisanja kya myaka etaano ng’akozesa eddembe ly’abantu abakulu erya bonna ng’akozesa akalulu akolondebwamu kabokisi ak’ekyama ..Ab’ekikugu mu lukiiko lw’ekibuga bakulemberwa omuwandiisi w’ekibuga nga wansi we ebitongole bya munisipaali bina: ekitongole ekiddukanya emirimu, ekitongole ky’eggwanika, ekitongole ky’ebyobulamu mu bantu, n’ekitongole kya yinginiya. [10]

Ebintu ebikwata ku nsonga eno

kyusa

Ebifo ebirala bino wammanga eby’enjawulo bisangibwa mu nsalo z’ekibuga oba okumpi n’empenda zaakyo: [5]

1. 1. . Akatale ka Mukono Central

2. 2. . Uganda Christian University, yunivasite ey'obwannannyini eyeegatta ku Kkanisa ya Uganda

3. 3. . Namilyango College - essomero lyekisulo kyabalenzi eri kyasinze obukulu mu Uganda, lisangibwa kilometres 8 (5.0 mi), ku luguudo, mu bukiikaddyo-bugwanjuba bwa Mukono

4. 4. . Oluguudo lwa Kampala-Jinja Highway, oluyita wakati mu kibuga okuva mu maserengeta okudda ebuvanjuba

5. 5. . Eddwaaliro ly'ebyobulamu elya health center IV

6. 6. . Supamaketi ez’enjawulo ezisangibwa kuluguudo oluva e Kampala okudda e Jinja, ng’okusingira ddala City Shoppers, Sombe Supermarket ne Paris Corner Supermarket.

7. 7. . Ekitongole kya Ssamba Foundation

8. . Abacus Parenteral Drugs Limited, kkampuni ekola eddagala ely'enjawulo ery'amazzi omul eryokunywa ne ly’amazzi agataliimu buwuka okukozesebwa mu mpiso, eritonyezebwa mumatu, ne ku maaso . [11]

Laba nabino

kyusa
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/mukono-the-king-s-hand-1562996
  2. https://mukono.go.ug/lg/location-size
  3. https://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Kampala%20()&toplace=Mukono%20(Mukono)&fromlat=0.3155556&tolat=0.3533333&fromlng=32.5655556&tolng=32.7552778
  4. https://www.google.com/maps/dir/Mukono/Lugazi/@0.388052,32.705377,11z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dc7b71409b0a5:0xdddaf82b549ec570!2m2!1d32.7520139!2d0.3548655!1m5!1m1!1s0x177dd073b20aada5:0xacb1dc220540be1e!2m2!1d32.9381321!2d0.3739085!3e0
  5. 5.0 5.1 https://www.google.com/maps/place/0%C2%B021'36.0%22N+32%C2%B045'00.0%22E/@0.3591283,32.7488792,211m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.36!4d32.75?hl=en
  6. https://www.floodmap.net/Elevation/ElevationMap/?gi=228853
  7. http://www.npa.go.ug/
  8. https://web.archive.org/web/20140707231502/http://www.ubos.org/onlinefiles/uploads/ubos/pdf%20documents/TP52010.pdf
  9. http://citypopulation.de/Uganda-Cities.html
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2020-12-05. Retrieved 2024-09-10.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://allafrica.com/stories/201001250599.html

Ebiwandiiko ebikozesebwa

kyusa