Gakuweebwa Charles Muwanga !! Mukwanaganya(Cerebellum) .

Cerebellum animation

Omukwanaganya ky'ekitundu ky'obwongo ekikwanaganya ebintu eby'enjawulo ebigenda mu maaso mu mubiri omuli n'okwetengerera .Era guyitibwa "mwetengereza.

Kino ekitundu kibeera mabega mu mutwe wansi w'omulowooza. Ekitundu ky’obwongo kino kye kifuga enkwanaganya y’ebitundu by’omubiri (coordination) n’obwetengerevu (balance), omuntu n’oba nga wesimbye bulungi awatali kuwulira kantolooze nga otambula oba nga oyimiridde era kino kye kikola ku nkwanaganya y’emifumbi (coordination of muscles).  Mukwanaganya kikwanaganya okwenyenya oba okuva mu kifo kwonna okweyagalire.

Omulamwa guno gwoleka bulungi ki ekikolebwa ekintu ky'obwongo ekyo.Omwetengereza ky'ekifundikwa ky'okukwanaganya ebikolebwa omubiri eby'enjawulo n'okwetengerera.