Muntunsolo ya byanfuna(homo economicus)

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Omuntu Ensolo y’Ebyan

Amaka amagunjufu gabaamu abazadde abalaga abaana nti , omuntu nsolo ya byanfuna , alina okubaako ky’akola okufuna ensimbi oba ebintu byeyetaaga mu bulamu. Omuntu, nsolo ya byanfuna , atalina kubeera awo ng’aleze engalo awatali kukola oba kubaako ky’atondekawo, ekyettunzi oba ye kennyini bye yetaaga mu bulamu.

Omuntu kalimagezi (intelligent man) , obutafaanana na nsolo ndala alina obusobozi okufuga obutonde (taming nature) nga abukkakkanya, n’okubujjamu bye yetaaga okuyita mu kukozesa obwongo n’ avumbula , n’okuyiiya engeri gy’ayinza okutondeka (to produce) ebintu bye yeetaaga okutumbula omutindo gw’obulamu  bwe n’entabaganya ye . 

Kino kye kimuyamba okukkakkanya obutonde obukaalamufu , gamba nga omuntu asimba emiti oba afukirira ebirime , azimba amayumba, akola n’ayambala engoye ezibugumya omubiri , aweesa ebikola (tools), masiini, alima emmere, akola eddagala ery’okwejanjaba obulwaddwe, eby’entabula, n’ebirala. Tewali nsolo ndala esobola kukola kino era bw’oba omuntu omukulu nga tosobola kukola kimu kya kubiri ku ebyo waggulu oba weyisizza nga kisolo. Jjukira nti “akakyaama amamera”! Omwana mugunjulirewo nga akyali muto nga omuyigiriza okukola n’okutondeka eby’amaguzi oba byeyetaaga mu bulamu.

Okusobola okwekulaakulanya, omuntu alina okukola emirimu (labour) okwetuusaako ebyeetago bye ebisookerwako (basic needs) mu bulamu, omuli okuzimba enyumba, emmere, eddagala, n’obukuumi. Kino akikola ng’ayiiya engeri (techniques) z’okukolamu ebintu bye yetaaga okumutuusa ku byetaago bye, ekintu ekiva mu kukulaakulana mu magezi ag’ekikugu oba sayansi ne tekinologiya, ebintu ebibiri ebyetaagisa ennyo mu kuweesa oba okukola amakolero g’ebyamaguzi.

N’olwekyo obugunjufu kitandika na kumanya nti obutafaanana na nsolo ndala , omuntu nsolo enkozi y’emirimu(man is a labouring animal), alina okukola ku butonde okubujjamu by’ayagala ng’akozesa amagezi ge okuyiiya, okuvumbula n’okuweesa oba okulima n’okulunda okusobola okukola ebintu ebyetaagisa okugonza obulamu bwe.

Ng’ojjeeko okuweerera abaana mu masomero n’amatendekero, kyetaagisa okumanyisa abaana okuva nga  bato nti ensibuko y’obugagga eri mu kukola, naddala okutondekawo eby’amaguzi (production of commodities) n’okuba nti okutondeka(production)  kalombolombo kadda , ffe ab’omulembe guno ke tugenda tusuulirira, ekintu ekitukubye obwavu naddala wano mu Afirika . 

Mu butuufu, wano mu Buganda okuva edda n’edda omusingi gwa ebyenfuna gubadde guyimiridde ku bino wammanga , abaana baffe bye tulina okubakubiriza okwenyigiramu okuva nga bato:

 Okukozesa Ettaka.

Lino okusinga lyakozesebwanga mu byabulimi ng’abantu balima ebirime eby’okulya n’ebireeta ensimbi. Abaganda baalimanga emmere nga lumonde , balugu, kyetutumula, kaama, nandigoya, endaggu, awamu n'amayuuni, enva ng'ebbugga , ejjobyo, ensugga, nnakati , entula , empindi , ebijanjaalo , enkoolimbo , empande , enderema, n'obuyindiyindi. Bino byonna era bikyasobola okuvaamu ensimbi ezimala nga obadde obigasseeko emmwanyi, kasooli, obulo, omuwemba, n’ebirala.

 Okulunda embuzi, enkoko, n'endiga.

Ente zaalundibwanga kitono. Ku mulembe guno buli muganda asaanye abeeko ne kyalunda awaka naddala ente ez’amata n’embuzi. Ekyetaagisa mu buli maka kwe kuba ne yiika nga bbiri ezikubiddwaako seng’enge n’ekikomera eky’emiti ku bbali embuzi zetaaye awatali kusibwa ku migwa na kugenda kulya birime bya bariraanwa. Wewuunya okulaba ettale ekkalu mu Buganda eritaliiko nsolo  zirya  muddo gulirimu . Obusa bw’ensolo buba buyamba okukozesebwa nga nakavundira okujimusa ettaka omusimbibwa ebirime.

 Okuweesa :

okuweesa

Okuweesa nga basaanuusa ebyuma okubijja mu matale ne babiweesaamu obwambe, ebiso, enkumbi, amafumu, n'embazzi. Ku mulembe guno ebisinga obungi ku bino tubigula kuva bweru wa ggwanga so nga ate tuyinza okubikolera wano.

 Okukomaga .

Okukola ebyambalo mu mbugo enkomage. Bino kati biyinza okukolebwa wano mu ngeri ez’enjawulo n’ebyuma ebya tekinologia omulongoseeemu kyokka n’embugo zikyali za ttunzi kuba mwe musinga okuziikibwa abafu.

 Okusuubulagana n’ebitundu oba amawanga amalala.

Kino tekisobola kubaawo awatali kutondeka nga tulima ne tulunda awamu n’okukola eby’emikono omuli n’okuweesa.Okusuubulagana kyali kyatandika dda wano mu Buganda . Edda Bunyoro nga tubagulako omunnyo ogwavanga e Katwe, enkumbi, ebiso, n'embazzi kubanga n'Abanyoro baalinga baweesi balungi ddala olw'ensi yaabwe eyalimu nnyo amatale agaasaanuuusibwanga okufunamu ebyuma.

 Eby’okwerinda.

Mu bitongole ebikuumi by’eddembe na kati mulimu emirimu mingi. Edda Buganda yali nsi nwanyi ya ntalo. Kati nga tuli mu ggwanga erya Uganda tetwetaaga kunaawuza ntalo kyokka tulina okuwa amaanyi abavubuka baffe okweyunira ebitongole ebikuumaddembe nga bakolera wamu ne bannayuganda abalala.Emirimu egiri omwo ntoko.Ebyokulwanyisa byakolebwanga okuva mu byuma n'emiti. Muno mwalimu amafumu, obusaale, engabo, n’embuukuuli. Bino na kati byetaagisa okwekumisa mu maka, amasomero, oba amakolero, nga amateeka bwe galagira.

 Emirimu gy’ebyemikono emirala.

Obusobozi bw’Abaganda abedda era bweyorekeranga mu mirimu gy'ebyemikono (Crafts). Muno mwalimu okuluka ensero, ebiyagi omuterekwa emmere enkalu, okubumba ebibumbe;okubajja;okukola ebyokulwanyisa; ensumbi, ebita n'endeku. Okujjako eby’okulwanyisa, na kati oyinza okufuna ensimbi mu byemikono ebisigadde.

 Okukola ensero .

okulola ensero

Okukola Ensero (basketry) kye kimu ku bintu omuganda owedda bye yakugukangamu mu by’akozesa awaka n'okwerinda - nga bakola ebisaakaate n'emmuli, okusereka ennyumba mu ngeri eyokuluka, n'engabo. Abakyala be bakolanga enkomera/ebisaakaate, ebiyagi, okubaga emmuli, okusereka , okukola obutego, n'ebisero byo mu nnimiro, ebibbo n'obusero obutono obutereka emmere entonotono, emikeeka, ebibikka ku nsuwa , n’ebirala.

 Okubumba .

okubumba

Okubumba (pottery) nga bakozesa ebbumba kwalimu okukola ensuwa/ensumbi (water pots}, ebibya(bowls), entamu(cooking pot), ne emindi (smoking pipes) ezitoneddwa mu langi enzirugavu, enjeru, n'emyufu. Na kati mu Buganda mukyalimu ebbumba lingi abavubuka mwe basobola okufuna ensimbi nga babumba ebyettunzi eby’enjawulo.

 Ebikozesebwa eby’enjawulo .

Ebyakozesebwanga okusala n'okuwaata ebyokulya(cutlery) nabyo byakolebwanga mu byuma . Mwalimu embazzi, enkumbi, amalobo, amafumu, ennyondo. N’ebikozesebwa mu masinzizo. Ebisinga obungi ku bino byonna bikyali ku katale .

 Okubajja .

okubajja

Mu kubajja mwalimu obutebe obutonetone, ebikozesebwa eby’omuti ng'oluseke , ekiwujjo, ebyanzi by’amata, ebikomaga embugo , amaato, ebivuga by'abayimbi ng'engoma n'endingidi(membra phones) , n’ebirala. Obusobozi bwa Buganda obulala bweyolekera mu nakitondekabirungi (art) mu kukuba ebifanyi , okutona, okusiiga, okuwawula, okuwoola, n’okuwunda.

 Okutona.

Okutona, mu Lungereza “ to stain, to dye, to apply colour on something”, kwakolebwanga ku mbugo era nga luno baluyita olubugo olutone.

 Okuwunda.

Okuwunda , mu Lungereza to “decorate, to emberlish or give fine” finish kwakolebwanga mu Lubiri Iwa Kabaka ku bintu ebyakozesebwanga Kabaka oba mulungereza biyite King's objects, insignia, utensirs, n'ebirala. Gano ge gayitibwanga "Amakula ga Kabaka"(The King's Ornamental work).

 Okuwoola.

Okuwoola, mu lungereza engraving oba sculpture, ku bibajje ku mbawo oba ku mayinja

 Okusiiga.

Okusiiga , mu lungereza to paint, ekintu mu langi ennugi. Okusinziira ku kyenkulaze waggulu awo okiraba nti yadde tewaaliwo nkola ya byanfuna ng'eyomulembe guno, abazungu nga tebannajja wano, tewaaliwo bwavu na buwejjere ng'ebiriwo kati kubanga abantu baalina obusobozi obw’enjawulo , kati bye basuuliridde olw’okwagala emirimu gya malidaadi egy’amataayi..

Ekyewunyisa kiri nti ebintu ebyo byonna bikyaali bya ttunzi naye abazadde oba amasomero matono nnyo agakola okutendeka abaana mu bintu ebyo okujjako okubasomesa amagezi ago mu mutwe, omutali bya mikono.