Musa Ecweru

munnabyabufuzi wa Uganda

Musa Francis Ecweru (yazaalibwa nga 25 Ogwekkuminogumu 1964), mubalirizi wa bitabo era munnabyabufuzi mu Uganda, eky'okusatu mu bunene mu byenfuna byomukago gw'ensi zomu Buvanjuba bwa Afirika ogwa East African Community. Ye Minisita omubeezi ow'ebigwa bitalaze mu Kabinenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo kino nga 1 Ogwomukaaga 2006.[1] Mu kulondebwa kwa Kabinenti empya nga 16 Ogwokubiri 2009,[2] era n'okwa nga 27 Ogwokutaano, 2011,[3] yasigaza ekifo kye mu Kabinenti. Era ye Mubaka mu Paalamenti omulonde akiikirira ekitundu kye Amuria, Disitulikiti y'e Amuria. Yasooka okulondebwa mu kifo ekyo mu 2006.

Ecweru, Musa Francis.jpg

Obuto bwe n'okusoma kwe

kyusa

Musa Ecweru yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Amuria, mu Buvanjuba bwa Uganda, nga 25 Ogwekkuminoogumu 1964. Ye mwana owookusatu mu baana ekkumi aba William Ecweru. Okuva mu 1971, Musa yasomera ku Angole/Wera Primary School, n'amaliriza mu 1979. Mu 1980, yayingira mu Teso College Aloet mu misomo gye egya Siniya. Oluvanyuma lw'emisomo gye egya siniya, yegatta ku ku ssomero ly'ebyobulimi erya Bukalasa Agricultural College okusoma ku bikwatagana ku cooperatives naye teyasobola kumalako misomo gye olw'olutalo lwabayeekera olw'agwawo mu Luweero akaayitibwa Luwero Triangle. Era oluvanyuma yaddayo okubeera ewaka ewa Colonel William Omaria Lo Arapai, Munnabyabufuzi omumanyifu ennyo mu Teso ku mulembe gwa Milton Obote II. Colonel Omaria yamusindika okusoma obubazi bw'ebitabo ku Yunivasite y'e Nkumba, mu biseera ebyo eyali amanyikiddwa nga Nkumba College. Yatikirwa okuva mu ssomero eryo ne Dipuloma mu kubala ebitabo eya Diploma in Accounting. Oluvanyuma, yafuna Satifikeeti mu kwataganya abantu eya Certificate in Human Resources Management, okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda ekinene. Musa Ecweru era alina Diguli muBachelor of Arts mu by'obukulembeze obw'obululu & Development Studies okuva mu Uganda Martyrs University mu Nkozi, Disitulikiti y'e Mpigi.[4]

Ebyemirimu

kyusa

Okuva mu 1986 okutuuka mu 1992, yakola nga omubazi omukulu owa Kampuni ya Aracil Concrete Products, Bizinensi ya Uganda mu Amuria. Wakati wa 1992 ne 1993, yaweereza nga omuduumizi w'agye ly'ebyokwerinda erya Local Defence Commander (LDU), Mu ttundutundu ly'e Teso. Wakati wa 1993 ne 1994, yaweereza nga omumyuka akiikirira Pulezidenti(DRDC) mu Disitulikiti y'e Soroti. Yakyusibwa n'atwalibwa mu Disitulikiti y'e Lira mu 1994, nga omumyuka wa Pulezidenti, yaweereza mu kifo ekyo okutuuka mu 1998.

Mu 1998 yakuzibwa ku bw'akiikirira Pulezidenti era n'atwalibwa mu Disitulikiti y'e Nebbi, nga yaweereza okutuuka mu 2000. Yakyusibwa okutwalibwa mu Disitulikiti y'e Gulu ng'akiikirira Pulezidenti mu 2000, era yawererezaayo okutuuka mu 2002. era Yaweerezaako ng'akiikirira Pulezidenti owa Disitulikiti y'e Kasese, okuva mu 2002 okutuuka mu 2004 era owa Disitulikiti y'e Soroti wakati wa 2004 ne 2006. Okuva mu 2003, aweereza nga omukungu ow'egye lya Arrow Auxiliary Force, eggye ely'obwannakyewa elikuuma abakozi ba Gavumenti okuva eri abalumbaganyi b'akabondo ka Lords Resistance Army. Mu 2006, yeesimbawo ku kifo ky'omubaka mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Amuria. Yaddamu n'alondebwa mu Gwokuatu 2011, mu kifo kyenyini eky'obwa MP.[5]

Obulamu bwe

kyusa

Mufumbo. Era wa kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement. Awandiika ekimu ku mirimu gye, nga omubazi w'ebitabo.

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa

 

Ebyajuliziddwa eby'ebweru

kyusa
  1. https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
  2. https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
  3. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)