Musikisa/Okusikiza
Ssekalowooloza waffe Muwanga agamba nti okusikiza kitegeeza okuteeka ekintu oba omuntu mu kifo kyennyini awabadde omulala. Semaka bw'afa bamusikiza mutabani we ate era bwe bagoba omuntu ku mulimu bamusikiza omulala.
Mu kibalangulo , "Musikiza"(Substitution) si kika kya muddo wabula kitegeeza "kusikiza"(to substitute). Akakodyo kano kayitibwa kugaziya makulu ga bigambo ebiriwo(semantic extension).Ekyokulabirako:
Singa t=2 , wendowaza (evaluate) t+7 Ekibazo: Ky'okola kwe kusikiza t ne bbiri bwoti:
2+7= 9 . Awo oba omaze okuwendowaza.Oteeka 2 awabadde enkyusibwo "t" , n'olyoka osonjola.