Muwenda Mutebi II, Kabaka wa Buganda

munnabyabufuzi wa Uganda

Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II (Yazaalibwa nga 13 mu mwezi gwa Kafumuula'mpawu 1955)[1] ye Kabaka w'Obwakabaka bwa Buganda, nga buli mu Ssemateeka wa kati ensi eyitibwa Uganda. Ye Kabaka wa Buganda owa 36. Yalondebwa nga Ambasada wa UNAIDS mu kulwanyisa n'okukomya obulwadde bwa Siriimu (AIDS) mu basajja mu kitundu kya Eastern ne Southern Africa n'okusingira ddala mu Bwakabaka bwe obwa Buganda mu Uganda.[2][3]

Kabaka Muwenda Mutebi II

Ajja atya okufuuka Kabaka

kyusa

Yazaalibwa ku ddwaliro lya Mengo Hospital.[4] Mutabani waEdward Frederick William David Walugembe Mutebi Luwangula Muteesa II, eyali Kabaka wa Buganda, wakati wa 1939 ne 1969. Nnyina ye mugenzi Nnaabakyala Sarah Nalule, Omuzaana Kabejja, ow'ekika ky'Enkima.

 
Muwenda Mutebi II, mu nsi ya Ireland, mu 1966

Yasomera mu Budo Junior School, ne yeeyongerayo mu King's Mead School - Sussex ne mu Bradfield College, essomero lya Gavumenti erisangibwa mu ssaza ly'e West Berkshire. Oluvannyuma yeegatta ku Magdalene College, Cambridge.[5] Kigambibwa nti ku myaka 11, Mutebi yalondebwa kitaawe okubeera omusika we nga 6 omwezi gwa Muwakanya 1966.[6] Bwe yali akyali mu Buwang'anguse yakoalko nga Associate Editor ow'akatabo ka African Concord[7] era mmemba w'olukiiko olufuzi olw'ekibiina kyaAfrican National Congress (ANC) mu Kibuga London ekya Bungereza. Nga 21 Ogwekkuminoogumu 1969, nga Kitaawe akisizza omukoni (afudde), yasikira kitaawe, nga akulira olulyo Olulangira mu Buganda.

Yakomawo mu Uganda mu 1988, nga Obote II aggiddwa mu buyinza. Yalangirirwa e Buddo- Naggalabi nga 24 mu mwezi gwa Kasambula 1993 ng'Obwakabaka obw'enjawulo buzziddwawo mu Uganda mu kuteesa okwalimu ne Godfrey Serunkuma Lule.[8] Nga 31 mu mwezi gwa Kasambu 1993, yatuuzibwa ku Nnamulondo ya bajjajja be e Buddo. Olubiri lwe olukulululi Mengo.


Obufumbo bwe

kyusa
 
Kabaka Muwenda Mutebi II ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda ku Matiikira ag'omulundi ogwa 23

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mufumbo ne Mukyala we gwe yawasa nga 27 mu mwezi gwa Muwakanya 1999.

Ekitiibwa ekitongole ekya mukyala wa Kabaka ye Nnaabagereka. Erinnya lye mu bujjuvu ye Sylvia Nagginda, Nnaabagereka, muwala wa John Mulumba Luswata ow'e Nkumba, Kyaddondo, ow'ekika ky'Omusu nga nnyina ye Rebecca Nakintu Musoke abeera mu kibuga New York. Muzzukulu wa George William Musoke ne Nora Musoke ab'e Nazigo, Kyaggwe; n'Omutaka Nelson Nkalubo Ssebuggwawo ne Catherine Ssebuggwawo ab'e Nkumba. Embaga yaabwe yali mu Saint Paul's Cathedral Namirembe, mu Kampala, nga 27 mu mwezi gwa Muwakanya 1999.[9] Bombi balina omwana omu nga ye mumbejja Sarah Katrina Mirembe Ssangalyambogo Nachwa, eyazaalibwa nga 4 mu mwezi gwa Kasambula 2001 mu kibuga London, mu Bwakabaka bw'e Bungereza.

Abaana be

kyusa

Mu baana ba Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mulimu:  (1) Omulangira (Kiweewa) Savio Muwenda Juunju Suuna, nga nnyina ye Vénantie Sebudandi. Yazaalibwa mu kibuga London, United Kingdom, mu 1986. Yasomera mu King's College, Budo, nga tannagenda Bungereza ku misomo gye egyaddirira. (2) Omumbejja Joan Nassolo. (3) Omumbejja Victoria Nkinzi. (4) Omumbejja Katrina Sarah Kirabo Ssangalyambogo. Yazaalibwa mu kibuga London - UK, nga 4 Mu mwezi gwa Kasambula 2001. Asomera mu masomero g'obwannannyini mu Kampala, Uganda. Muwuzi mukuukuutivu era awangudde emidaali n'engule nnyingi mu mpaka za East Africa, mu baana ab'emyaka gye.[10] (5) Omulangira Richard Ssemakookiro, eyazaalibwa mu mwezi gwa Kasambula 2011. Nga 17 mu mwezi gwa Gatonya 2012 era eyali Katikkiro wa Buganda mu kaseera ako, Engineer John Baptist Walusimbi, ye yakakasa nti nnyina wa Ssemakookiro Muganda era yeddira Enseenene. Oluvannyuma ono yamanyika nga ye Rose Nansikombi, abeera mu Disitulikiti y'e Luweero mu Buganda (Mu Masekkati ga Uganda).[11]

Obuvunaanyizibwa bwe obulala

kyusa

Nga 15 mu mwezi gwa Kafumula'mpawu 2011, Yatuuzibwa nga Ssenkulu waMuteesa I Royal University eyasookera ddala. Yunivasity eno yatondebwawo mu 2007 n'abbulwamu Ssekabaka Muteesa I, mu kusiima obukulu bwe bwe yakola mu kuleeta ebyenjigiriza mu Buganda ne Uganda n'obusukkulumu bwe mu kuteesa okwaviirako Abangereza, Abafalansa n'Abawalabu okujja mu nsi ye mumyaka gya 1800 egyasembayo.[12] Nga akulira Obwakabaka bwa Buganda, Ye nnannyini Nkuluze Trust, ekitambuza ebintu by'Obwakabaka nga: Buganda Land Board, ekikola ku nsonga z'ettaka mu Bwakabaka, kkampuni y'amasimu eya K2 Telecom, BBS Terefaayina, CBS FM, Majestic Brands, ekivunaanyizibwa ku kutunda ebintu by'obwakabaka, Omwenge gw'Enjule, ekizimbe kya Muganzirwazza Plaza, eky'ebyobusuubuzi e Katwe, Ekizimbe kya Masengere n'ebirala.

Ebitongole by'abaddemu omuyima

kyusa
  • Muyima era akulira abayima ba Buganda Cultural and Development Foundation [BUCADEF] (okuva mu 1996).
  • Ye muyima wa Kabaka Foundation.[13]
  • Muyima wa Buganda Development Agency (BDA).
  • Muyima wa Monkton Foundation.

Ebitiibwa

kyusa

Eby'omu Uganda

kyusa

Ebitiibwa eby'obuwangwa

kyusa

Empologoma ey'eddembe, Ssabalongo, Magulunnyondo n'ebirala.  

Ebijuliziddwamu

kyusa

 

Ebijuliziddwamu eby'ebweru

kyusa
  1. https://www.oxfordreference.com/display/10.1093/acref/9780195382075.001.0001/acref-9780195382075-e-1468
  2. http://ug.one.un.org/events/kabaka-champion-campaign-mobilise-men-test-hiv-and-access-treatment
  3. https://www.monitor.co.ug/News/National/Kabaka-appointed-HIV-goodwill-envoy/688334-3838510-600aet/index.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2007-10-17. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.theguardian.com/theguardian/2001/oct/06/weekend7.weekend5
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1300921/kabaka-ronald-mutebi-57
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-26. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://web.archive.org/web/20190520034240/https://allafrica.com/stories/200702260832.html
  9. https://www.theguardian.com/theguardian/1999/aug/27/features11.g28
  10. http://www.newvision.co.ug/news/653367-ssangalyambogo-named-on-team-for-cana.html
  11. http://www.newvision.co.ug/news/628539-buganda-prince-mother-revealed.html
  12. https://web.archive.org/web/20140908113055/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/752588
  13. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1085046/-eur-kitoobero-profitable-eur
  14. http://direct.ugandaradionetwork.com/story/buddo-girl-namaganda-receives-bugandas-highest-honour