Nakaseke
Nakaseke kabuga mu Disitulikiti y'e Nakaseke mu Masekkati ga Uganda. Ye Munisipaali enkulu era ekifo kyeby;obusuubuzi ekisinga obunene mu Disitulikiti. Era, ekibuga kyeby'obufuzi mu Disitulikiti kye Butalangu.
Gy'ekisangibwa
kyusaNakaseke kigerageranyizibwa okubeera Kilo mita 66, mu Bukiikaddyo bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekinene ekya Uganda.[1] Oluguudo oluva e Kampala okutuuka e Wobulenzi, olugendo lwa kilo mita 47,[2] era nga lwonna lwa kooraasi, nga kilo mita 19 okutuuka e Nakaseke luguudo lwa ttaka. Ebipimo by'ekibuga 0°43'48.0"N, 32°24'54.0"E.[3] Nakaseke etudde ku bwagaagavu bwa mitta 1,276 okuva ku kkomo ly'enyanja.
Ekifaananyi eky'awamu
kyusaEkibuga ky'e Nakaseke kyakutulwa okuva ku Gombolola ly'e Nakaseke mu mwaka gwa 2010. Ekibuga mu myaka gyakyo egy'asooka, kafuna okusoomozebwa okwekuusa ku nteeketeeka y'ebyenkulakulana.
Abantu abasinga mu Nakaseke Baganda, eggwanga ly'abantu elisinga obunene mu masekkati ga Uganda. Okuteebereza kw'omuwendo gw'abantu okw'ebitundu 59.2 ku buli kikumi tebaasoma, awatali kkomo ku lulimi Oluganda. Ettendekero elisomesa abasomesa ba Pulayimale ly'azimbibwa mu Nakaseke. Nakaseke Hospital, eddwaliro lya Gavumenti ery'ebitanda 120 nga litwalibwa Minisitule y'eby'obulamu eya Uganda, liri mu Nakaseke is in Nakaseke town. Eddwaliro likwasaganyibwa Gavumenti y'e Nakaseke eyaNakaseke District Local Government[4] Eddwaliro lirina enkolagana n'amalwaliro amalala nga liyita mu nkola ya Ladiiyo. Gavumenti ya Uganda erina enteekateeka ey'okuzimba ekifo ky'amakolero mu Nakaseke.[5]
Omuwendo gw'abantu
kyusaMu biseera by'kubala abantu n'ebintu byabwe nga 27 ne 28 Ogwomunaana 2014, ekitongole ekikwasaganya obungi bw'abantu ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS), yalaga omuwendo gwa'abantu e Nakaseke okubeera 7,238.
Mu 2015, UBOS yateebereza omuwendo gw'abantu mu kibuga ky'e Nakaseke okubeera 7,400. Mu 2020, ekitongole ekikwasaganya omuwendo gw'abantu ky'ateebereza omuwendo gw'abantu mu makkati g'omwaka okubeera 8,600. UBOS yabalirira enkula y'omuwendo gw'abantu okubeera mu 3.05 ku buli kikumi, wakati w'omwaka gwa 2015 ne 2020.
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa
Ebijuliziddwamu eby'ebweru
kyusa- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Kampala/Nakaseke+Hospital,+Kyangato/@0.5148766,32.2483913,10z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc0f9d74b39b:0x4538903dd96b6fec!2m2!1d32.5825197!2d0.3475964!1m5!1m1!1s0x177c5f1faf441e87:0x1ece213498af3b3!2m2!1d32.3990032!2d0.7179502!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Kampala/Wobulenzi/@0.5300612,32.4083503,11z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc0f9d74b39b:0x4538903dd96b6fec!2m2!1d32.5825197!2d0.3475964!1m5!1m1!1s0x177c5cb6a658d119:0x2976d95c448d4a6!2m2!1d32.531617!2d0.7193581!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B043'48.0%22N+32%C2%B024'54.0%22E/@0.7306002,32.42123,2220m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.73!4d32.415
- ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/newly-renovated-nakaseke-hospital-struggle-with-operational-costs
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-10-30. Retrieved 2021-10-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)