Nakasigirwa
Nakasigirwa kitegeeza akagambo oba akayingo akayimirirawo ku lw’erinnya mu mboozi/sentensi. Nakasigirwa zirina ebika ebiwerako era nga mwe muli bino wammanga.
Ebika bya nakasigirwa
kyusaNakasigirwa ez'obuntu
kyusaZino ze nakasigirwa ezikozesebwa mu kifo ky’amannya ag’abantu. Mu zino mulimu nakasigirwa za bika bibiri: i) Ezeemala ii) eziteemala
Ka tuzirabire mu mweso guno wammanga. Omweso ogusooka gulaga nakasigirwa ez'obuntu ezeemala.
Omuntu | Bumu | Bungi |
---|---|---|
Asooka | Nze | Ffe |
Owookubiri | Ggwe | Mmwe |
Owookusatu | Ye | Bo |
Omweso oguddako gulaga nakasigirwa ez'obuntu eziteemala.
Omuntu | Bumu | Bungi |
---|---|---|
Asooka | n- | tu- |
Owookubiri | o- | mu- |
Owookusatu | a- | ba- |
Nakasigirwa ezeemala: zino zisobola okuyimirirawo ku bwazo ne ziwa amakulu agategeerekeka. Nakasigirwa eziteemala: zino zimala kuyungibwako kigambo kirala ne ziryoka ziwa amakulu. Era nga bw'olabye mu mweso ogwokubiri waggulu, nakasigirwa eziteemala, ziwandiikibwa nga ziragirwa nti buwango obuyungibwa ku ntandikwa y'ekigambo (prefixes).
Ebyokulabirako: Eziteemala
- ndya mmere
- osoma kitabo
- agenda kujja
Ezeemala
- Nze eyabbiddwa
- Ggwe watutte omwana mu ddwaliro.
- Omwana teyayise mmwe?
Nakasigirwa endazi
kyusaZino ze nakasigirwa eziraga ebbanga eririwo wakati w’omuntu ayogera, ekyo ky'ayogerako wamu n’oyo gw’akigamba. Nakasigirwa zino ziragibwa n’obuyingo busatu:
Ekifo awali ekyogerwako Akayingo
- kumpi n’ayogera kyokka wala n’oyo awuliriza -no (bano)
- wala n’ayogera kyokka kumpi n’awuliriza -o (abo)
- kiri wala w’abantu bano bombi(ayogera n’awuliriza) -li (bali)
Nakasigirwa ezibuuza
kyusaZino zo zibeera zibuuza era nga sentensi mwe zibeera zikomekkerezebwa n’akabonero akabuuza (?); ne mu zino mulimu ezo ezeemala n’eziteemala.
Ezeemala:
- ddi?
- Ki?
- wa?
Zino ziyitibwa zityo olw’ensonga nti zisobola okuyimirirawo ku bwazo ne ziwa amakulu agategeerekeka nga tezigattiddwa ku bigambo birala. Okugeza:
-Abadde akola ki? -Olikomawo ddi? -Wa gy’ogenda okubiggya?
Eziteemala: Zino ziyitibwa zityo olw’ensonga nti ziba zirina kusooka kugattibwako kigambo oba kayingo kalala okusobola okuwa amakulu agategeerekeka. Okugeza:
- Omwana okubye waaki?
- Abaana abayise wano baani?
- Enkoko y’akabiika amagi ameka?
- Amazzi g’okimye galiwa?
- Nnakawere ali atya?
Nakasigirwa ez’obwannannyini
kyusaZino ziraga obwannannyini omuntu bw’aba nabwo ku kintu oba omuntu. Zeeyolekera mu muntu asooka, owookubiri n’owookusatu, mu bumu ne mu bungi.
Omuntu | Bumu | Bungi |
---|---|---|
Asooka | -ange (kyange) | -affe (kyaffe) |
Owookubiri | -o (kikyo) | -ammwe (kyammwe) |
Owookusatu | -e (kikye) | -abwe (kyabwe) |
Nakasigirwa Entabaluganda
kyusaZino ziteekawo oluganda wakati w’erinnya ekkozi oba erikolebwako mu mboozi. Zino zikyukakyuka n’ennyingo y’olubu erinnya mwe liba liri. Eby’okulabirako:
i)Enkozi (‘a’, ‘o’ , ‘e’)
- Ekikopo ekyatise kinsaze.
- Omwana alya musanyufu.
- Omuddo ogukaze mubi
ii)Ezikolebwako Zino kuliko: ( bye, ke, kye, ze, lye, be, ge)
- Ekitabo kye babbye kipya.
- Omusaayi gwe baasanze mu kinaabiro muyitirivu.
- Ente ze baleeta zaayonoonye ebirime.
- Ettooke lye mulidde tto.
Nakasiba
kyusaZino nazo zireetawo oluganda wakatiw’erinnya n’ebigambo ebirala ebikozeseddwa mu mboozi. Nakasiba zimalawo okubuusabuusa mu mboozi. Mu zino mulimu: ( bye, ke, kye, ze, lye, be, ge,…….)
Eby’okulabirako
- Emiyembe gye balya.
- Matooke ge batema.
- Lusuku lwe balima.
- Akataayi ke kasaze.
Nakasigirwa eziggumiza
kyusaZino zongera amaanyi ku mukozi/akolebwako gwe ziba ziddiridde mu mboozi. Nazo zokyukakyuka okusinziira ku lubu lw’erinnya eriba liri mu mboozi.
Eby’okulabirako
- Nalule ye gwe banoonya.
- Akambe ko ke basasiza.
- Embwa yo ye ndalu.
- Ebinsambwe byo bye balukisa.
Nakasigirwa ez’essira
kyusaZino ziraga era n’okussa essira ku linnya eriba mu mboozi. Ziragibwa n’obuyingo bubiri –nna, ne –kka. Buno bwe bugattibwa ku nnakasigirwa okusobola okuwa amakulu.
Eby’okulabirako;
- Ayise yekka yajja okusuumusibwa.
- Abalwadde bonna baanirizibwa.
- Abasajja bonna balimba.
- Ebijanjaalo byonna byakooleddwa.
References
kyusa- Ashton, Ethel O. (1954) Luganda grammar.London, New York, Longmans, Green.
- Kyagaba, Dan. (2003). Grammar w'Oluganda omusengejje.
- Walusimbi, Livingstone. Oluganda lwa Yunivaasite. Makerere University.