Nakongezalinnya
Abawandiisi ab’enjawulo bakozesa ennyinyonnyola ez’enjawulo okuddamu ekibuuzo: Nakongezalinnya kye ki?, wabula nga bonna bafundikira nga wadde bakozesezza ebigambo eby’enjawulo naye ng’amakulu gasigadde ge gamu. Noolwekyo ekimiimo Nakongezalinnya tusobola okukinnyonnyola nga Ekigambo ekyongera okunnyonnyola oba ekyongera amakulu ku linnya eribeera likozeseddwa mu mboozi/sentensi.
Nakongeza linnya mu mboozi ziddirira linnya lye zibeera zongerako amakulu. Okugeza;
- Omuwala omulungi ani amuvumye obubi?
- Omusajja omuwanvu amenyese.
- Omuti omukadde gugudde.
Waliwo Nakongezalinnya nga zirina zinnaazo bwe zikontana nga mwe muli zino wammanga:
- -gezi-/-siru
- -wombeefu/-lalu
- -lungi/-bi
- -to/-kulu/-kadde
Ebika bya Nakongezalinnya
kyusaNakongezalinnya nakabala/ez’obutonde
kyusaZino ze Nakongezalinnya zi kaasangwawo oba ez’obutonde ezitalina nsibuko kuva mu za bigambo birala. Okugeza:
- -lungi
- -gezi
- -lalu
- -mpi
Nakongezalinnya eziva mu bigambo ebirala
kyusaKino kye kika kya Nakongezalinnya ezizaalukanyizibwa okuva mu bikolwa. Mu zzo mulimu zino wammanga:
- -tamiivu (tamiira)
- -gayaavu (gayaala)
- -tangaavu (tangaala)
- -limi (lima)
Nakongezalinnya Ez’ebifo
kyusaZino ze Nakongezalinnya eziraga ekifo erinnya kye likwata. Okugeza:
- sooka
- wakati
- kungulu
- semba
- munda
- wamberi
Nakongezalinnya Ez’engeri/Ez’ekikula
kyusa- -wanvu
- -nene
- -mugevvu
Nakongezalinnya Ez’emiwendo/obungi:
- -ngi
- -lwebeeya
- -tono
- -kiganda
- -kafukunya
- -kisibo
- -keesedde
- -kawumbi
Nakongezalinnya Ez’obukulu Zino ze Nakongezalinnya eziraga/ezinnyonnyola "obuwangaazi" bw’erinnya. Okugeza:
- -kadde
- -to
- -pya
- -zeeyi
- -ggya
- -vubuka
Nakongezalinnya Ez’obwannannyini
kyusa- -affe
- -ammwe
- -ange
- -abwe
Nakogezalinnya Endazi
kyusa- -ono
- -ezo
- -kino
- -ziri
- -kiri
- -bano
Nakongezalinnya ezibuuza
kyusaZino ziyamba okumanya ebifa ku linnya okugeza:
- wa?
- ani?
- ddi?
- tya?
- ki?
- meka?
Weetegereze bino:
Singa Nakongezalinnya ekyusa ekifo mu mboozi n’amakulu gaayo gakyuka okuva ku kubeera nga eyongera amakulu ku linnya olwo n’efuuka ekintu ekirala. Okugeza: Singa Nakongezalinnya –wanvu etandika emboozi olwo eba efuuse erinnya ku bwayo nga mu mboozi eno wammanga: a)Omusajja omuwanvu tayagalika.
Omuwanvu tayagalika.
Mu mboozi ezo waggulu, emboozi esooka egamba nti omusajja nga muwanvu si mwangu kwagala, ekiraga nti –wanvu nakongezalinnya eyongera amakulu ku linnya. Wabula emboozi ey’okubiri eraga nti Muwanvu linnya lya muntu naye ng’omuntu oyo tayagalika.
b)Abawala abalungi batuuse. Abalungi ndagala nnamu.
Nakongezalinnya zisobola okubeera nga zisukka mu emu mu mboozi. Singa zibeera nga zikozeseddwa mu mboozi, zigattibwa n’obugambo obuyunzi. Okugeza ku ky’okulabirako kino wammanga:
- Omwana omunene era omuzito omulwadde tatambulika naye ku lugendo.
Empeekera nakongezalinnya
kyusaSinga emboozi ebeeramu ebigambo ebisukka mu kimu nga byongera amakulu ku linnya eriri mu mboozi eyo, olwo ebigambo ebyo bifuuka empeekera Nakongezalinnya. Okugeza;
- Omuyizi addamu ennyo ebibuuzo ekiyitiridde asomeseka.
- Omukazi eyabba ssente mu bbanka yafa jjuuzi.
- Abayizi aboosayosa mu biseera by’okusoma bagwa nnyo ebigezo
Ebyo ebigambo ebisaziddwako waggulu bye tuyita empeekera Nakongezalinnya ate ekigambo ekimu ekibinnyonnyola kye tuyita Nakongezalinnya.
References
kyusa- Ashton, Ethel O. (1954) Luganda grammar.London, New York, Longmans, Green.
- Kyagaba, Dan. (2003). Grammar w'Oluganda omusengejje.
- Walusimbi, Livingstone. Oluganda lwa Yunivaasite. Makerere University.