Nambayo eno
Esta Nambayo Munnamateeka wa Uganda era mulamuzi y'alondebwa mu Kkooti ya Uganda ensukkulumu nga 4 Ogwekkumi 2019.[1]
n
Ng'ekyo tekinnabaawo, okuva nga 27 Ogwomunaana 2018 okutuusa nga 4 Ogwekkumi 2019, yaweerza nga Chief Registrar ow'essiga eddamuzi mu Uganda. Mu kifo ekyo , ye yali omulamuzi ow'okutaano owa Uganda, wansi wa (1) Ssabalamuzi (2) Omumyuka wa Ssabalamuzi (3) Omuklu w'aKkooti ejulirwamu (4) n'omuwandiisi w'essiga eddamuzi.[2]
Obuto bwe n'emisomo gye
kyusaNambayo yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Busia, mu 1968. Yasomera mu masomero g'abulijjo mu Pulayimale ye nga tannaba kugenda mu Tororo Girls School mu misomo gye ey'omutendera gwa O-Levo. yasomera ku Mackay Memorial College, mu Nateete, ku muliraano e Kampala, mu misomo gye egya A-Levo.[3]
Yakkirizibwa mu Ssetendekero wa Makerere, gye yasomera amateeka era nattikirwa Diguli esooka mu mateeka eya Bachelor of Laws. Oluvanyuma yafuna Dipuloma mu kukwasisa amateeka eya Diploma in Legal Practice, okuva mu ssomero ly'abannamateeka rya Law Development Centre, mu Kampala, e kibuga ekikulu ekya Uganda. Yafuna Diguli y'okubiri eya Master's degree mu Management, okuva mu Ttendekero lya Uganda Management Institute.[4]
Emirimu gye
kyusaYatandikira mu myaka gya 1990, nga munnamateeka mu kibiina ekirwanirira eddembe ly'abakyala ekya International Federation of Women Lawyers (FIDA), mu offiisi zaabwe ez'omu Kampala. Yegata ku balamuzi ab'eddala elisooka ng'omulimu ogwo yagukolera mu Kkooti z'omu Luweero, Nakasongola ne Kampala City Hall. Yakyusibwa n'atwalibwa e Mbarara ku ddaala ly'omulamuzi omujjuvu.Ng'ali eyo, era yaweereza nga Omumyuka w'omukuumi w'ebiwandiiko bya Kkooti y'e Mbarara.
Okuva e Mbarara, yaweereza ng'omulamuzi mu kkooti omuli Mengo, Nakawa ne Makindye, zonna zisangibwa mu Kampala. Mu kaseera kekamu yeweerezaako ng'omuyambi w'omukuumi b'ebiwandiiko mu Divizoni y'ebyettaka. Era akozeko ng'omumyuka w'omukuumi w'ebiwandiiko mu Kkooti enkulu, Divizoni y'ebyettaka, Divizoni y'ebyensimbi ne mu kkooti ejulirwamu (Kkooti etaputa Ssemateeka).
Nga tannaba kuweebwa mulimu ogwo, yali mukuumi w'abiwandiiko bya Kkooti ejulirwamu (Kkooti etaputa Ssemateeka). Ng'omukuumi w'ebiwandiiko, yadda mu bigere bya Paul Gadenya, eyali alondeddwa mu kifo ky'omulamuzi wa Kkooti enkulu mu 2018.[5]
Ebirala ebikulu
kyusaOmulamuzi Nambayo ye yali omulamuzi mu musango gwa Sate vs Adam Suleiman Kalungi, nga Kalungi yali avuunanibwa omusango gw'okutta eyali Omubaka omukazi owa Disitulikiti y'e Butaleja, omugenzi Cerinah Nebanda. Yamukaliga emyaka ena mu nkomyo oluvannyuma lw'omusango okumukka mu vvi naye ekibonerezokyasazibwamu Kkooti enkulu eya Uganda.
Ebirala ebikwata ku Famile ye
kyusaEsta Nambayo mukyala mufumbo era maama wa baana babiri.
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>
tag; no text was provided for refs named1R
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/I-will-rectify-Judiciary-challenges-Nambayo/688334-4731634-36luusz/index.html
- ↑ http://judiciary.go.ug/data/news/583/HW%20Esta%20Nambayo%20Named%20New%20Judiciary%20Chief%20Registrar%20.html
- ↑ https://chimpreports.com/judiciary-gets-new-chief-registrar/