Nana Kagga (era amanyikiddwa nga Nana Kagga-Hill oba Nana Hill oba Nana Macpherson) Munnayuganda mukozi wa filimu, muwandiisi wa filimu era muzannyi wa filimu.[1] Yawandiika era n'adayilekitinga filimu ya 2012 The Life era ye yawandiika era n'afulumya filimu y'obutundu eya Beneath the Lies.[2][3] Ye yawandiika Mukisa, My Sister's Keeper with Clive Nshiime, Pieces of Me] n'endala nyingi. Y'omu ku bannanyini ba kkampuni efulumya filimu eya Savannah MOON Kkampuni esinga era empanguzi ya Awaadi mu kufulumya filimu mu Uganda.

Obulamu bwe n'obuto bwe kyusa

Kagga yazaalibwa mu Nairobi, Kenya eri abazadde Abannayuganda, ng'omu Yinginiya. Kagga Muganda era alina akakwate ku kika ekifuga ekika ky'aBaganda, Abambejja. Kagga mwana w'akusatu mu baana omukaaga eri bazadde be. Mu kaseera mweyazalibwa, bazadde be baali mu buwangaanguse ku mulembe gwa Pulezidenti Idi Amin. Kagga yakulira mu Uganda mu maka ag'esobola obulungi. Okwongereza ku taatawe ne jjajja musajja ku ludda lwa taatawe, bana ku bagandabe bonna ba Yinginiya. Kagga abeera mu Kampala, Uganda n'abaana be 3. Ayogera bulungi Oluzungu n'Oluganda.

Emisomo gye kyusa

Kagga emisomo gye egya Pulayimale ku Kampala Parents School. N'oluvanyuma yegatta ku Gayaza High School, elimu ku masomero g'abawala ag'amaanyi mu Uganda, mu misomo gye egya O-Levo. N'oluvanyuma mu A-Levo ku Red Maids School, Bristol, essomero ly'abawala mu UK. Kagga yegatta ku University of Birmingham, Birmingham, UK gye yafunira Diguli eya chemical engineering. Kagga yali mugezi mu eyayita amasomo ga Sayansi n'ebyemizannyo. Mu biujjuko by'omusana, yakomawo mu Uganda era ye yali omuweereza wa pulogulaamu ya Jam Agenda ku WBS, Olulaga lwa TV ol'wali lusinga obunyuvu mu Uganda.[4]

Emirimu gye kyusa

Emirimu gy'obwa Yinginiya kyusa

Okugoberera okutikkirwa kwe, Kagga yagenda mu Florida, United States, n'oluvanyuma New Mexico, United States. Mu New Mexico, yakolera ku kkolero lya Laguna Industries nga Process Engineer mu Laguna ng'akola ku kontulakiti y'Eggye lya US.

Hollywood (nga Nana Hill) kyusa

Kagga yasalawo okukolerea okuzanya n'okuweereza mu Los Angeles era yanyumirwa. Kagga yazannya mu filimu eziwerako omuli Cowboys and Indians, A Good Day to Be Black and Sexy (Segment 'Reprise'), He's Just Not That into You, Star Trek, CSI: NY – Boo, Life, Runway Stars. Mu awazanyirwa filimu mu US, Kagga yazannya nga Mercy mu muzannyo gwa, Butterflies of Uganda by Darren Dahms nga gwalondebwa mu awaadi za NAACP award. Kagga yalabikira mu vidiyo z'enyimba ez'enjawulo eza P!nk, Amy Winehouse, Sting, Lenny Kravitz.[5] Kagga era yalabikira mu bulango bwa TV obw'enjawulo nga KFC, Coors Light, Pepsi, DSW, Microsoft, APPLE, Tylenol, DOVE.[6] Mu L.A, Kagga alina edduuka mu Santa Monica Blvd eliyitibwa A Vintage Affair.

Mu Uganda kyusa

Kagga yakomawo mu Uganda mu mwaka gwa 2009 n'atandiikawo bizinensi ya Savannah MOON Ltd. Savannah MOON wansi wa Savannah MOON Productions eyafulumya filimu ya The Life[7] eyalagibwa ku M-NET, filimu y'obutundu eragibwa ku TV eya Beneath The Lies – filimu y'obutundu,[8] nga mu kaseera kano elagibwa ku Urban TV era nga esaasanyizibwa aba MTN Uganda. Savannah MOON era ekolaganye ne kkampuni endala mu kufulumya filimu enyimpi n'empanvu okwo kw'ogatta ne filimu ez'ebitundu eziragibwa ku TV.

Nana y'atandikawo enkola ya You are Limitless (YAL), egenderera okutumbula, okulungamya n'okukuutira Abafirika naddala abavubuka abalina obusobozi. Kagga era y'akola nga Yinginiya w'amafuta mu zimu ku kampuni z'amafuta ennene ezikolera mu Uganda. Yali omu ku balamuzi b'empaka za Nnalulungi wa Uganda 2018.[9]

Filimu z'eyazannya kyusa

Ng'omuzannyi wa Filimu kyusa

Filimu kyusa

Omwaka Filimu Ekifo kye y'azannya Dayilekita Ebyawandiikibwa
2022 Nalwawo Nanta Emokor Eric Yafulumizibwa aba Savannah MOON Productions, Geoffix Films, Spectacle Media
2022 Pieces of Me Indigo Gray Namukasa Nsubuga Nicholas Yafulumizibwa aba Savannah MOON Productions
2009 Star Trek Enterprise Crew Member J. J. Abrams Paramount Pictures
He's Just Not That into You Party Guest Ken Kwapis Universal Pictures
2008 A Good Day to Be Black and Sexy (Segment Reprise) Candi Dennis Dortch Magnolia Pictures
2007 Collision Independent film
Hitch-hike Independent film
Cowboys and Indians Indian Short film

Telefayina ez'alaga filimu ze kyusa

Omwaka Elinnya lya Filimu Ekifo kye y'azannya Dayilekita Ebyawandiikibwa
2021 Prestige Jazmine Filimu y'obutundu eragibwa ku TV nga yafulumizibwa aba Ava Juliet Productions ku lwa Pearl Magic Prime
2014 Beneath the Lies – The Series Attorney General Joseph Katsha Kyasi TV series, Savannah MOON Productions
2008 Runway Stars Angel Web series
Life (filimu y'obutundu elagibwa ku NBC TV) Pretty Black Girl Filimu elagibwa ku NBC TV
2007 CSI: NY – Boo Josephine Delacroix Joe Dante Filimu y'obutundu eragibwa ku CBS TV
2006 BET Stars BET

Emizannyo gye yazannya ku siteegi kyusa

Omwaka Elinnya ly'omuzannyo Ekifo kye y'azannya Dayilekita Theater Ebyawandiikibwa
2008 Butterflies of Uganda[10] Mercy[11] Darren Dahms Mercy Greenway Theater September–October 2008

Ng'omu ku ba mmemba abakola mu kufulumya filimu kyusa

Omwaka Filimu/filimu ez'obuundu eziragibwa ku TV Obuvunanyizibwa bwe y'akwasaganya Dayilekita Ebyawandiikibwa
2023 Kasozi Heights (Feature film) Omuyambi wa Dayilekita, Dayilekita w'abazannyi, omuyambi w'omuwandiisi w'empapula ezigobererwa mu kuzannya, omutendesi w'abazannyi Emokor Eric Yafulumizibwa aba Ceekay Films
2023 Goolo (Feature film) Akulira abafulumya filimu, omuwandiisi wa sikuliputi/ omusunsuzi, Dayilekita w'abazannyi   Geoffrey Kasozi Yafulumizibwa aba Savannah MOON, eyasabibwa aba Maisha Magic Movies
2022 Mukisa (Feature film) Akulira ba Dayilekita, omuwandiisi wa sikuliputi, Dayilekita w'abazannyi, ateekateeka aw'okuzanyira/ okukwatira filimu Geoffrey Kasozi Yafulumizibwa aba Savannah MOON, eyasabibwa aba Maisha Magic Movies
2022 My Sister's Keeper (Feature film) Dayilekita, akulira abafulumya filimu, omuwandiisi wa sikuliputi, Dayilekita w'abazannyi, ateekateeka ekifo awanazanyirwa filimu Nana Kagga Yafulumizibwa aba Savannah MOON, eyasabibwa aba Maisha Magic Movies
2022 Pieces of Me (Feature film) Muzannyi, muwandiisi wa sikuliputi, Dayilekita w'abazannyi, akulira ba pulodyusa, ateekateeka ekifo awazanyirwa Nsubuga Nicholas Yafulumizibwa aba Savannah MOON, eyasabibwa aba Maisha Magic Movies
2022 Nalwawo (Feature film) Muzannyi, muwandiisi wa sikuliputi Emokor Eric Yafulumizibwa aba Savannah MOON, Geoffix99 Films, Spectacle Media
2021 Empaabi (Feature film) Omu ku ba Dayilekita, Dayilekita w'abazannyi, akulira ba pulodyusa Geoffrey Kasozi, Nana Kagga Yafulumizibwa aba Savannah MOON, Geoffix99 Films, Spectrum Uganda Media
2020 Embeera (Short film) Dayilekita, omuwandiisi wa sikuliputi, Dayilekita w'abazannyi, akulira ba pulodyusa Nana Kagga Yafulumizibwa aba Savannah MOON, Geoffix99 Films
2020 Ubuntu (Short film) Dayilekita, muwandiisi wa sikuliputi, Dayilekita w'abazannyi, akulira ba pulodyusa Nana Kagga Yafulumizibwa aba Savannah MOON, Geoffix99 Films
2019 Mela (TV/ Web series) Muyiiya, muwandiisi wa sikuliputi, Dayilekita Maria Corrazon, Nana Kagga Yafulumizibwa aba Savannah MOON
2019 The Quarry (Short film) Dayilekita w'abazannyi, akulira ba pulodyusa Eddie Kagutuzi Yafulumizibwa aba Savannah MOON, Baby Plantains production, Balkon Films
2018 Reflections[12] (TV Series pilot episodes) Muyiiya, muwandiisi wa sikuliputi, Dayilekita Filimu y'obutundu eragibwa ku TV Cleopatra Koheirwe, Gladys Oyenbot, Housen Mushema
2016 The Last Breath (Short film) Akulira ba pulodyusa, Dayilekita w'abazannyi Jordan Braise Ndawula Yafulumizibwa aba Savannah MOON, Kampala Film School , Balkon films
2014 Beneath The Lies – The Series[13] Muyiiya, muwandiisi wa sikuliputi, akulira pulodyusa Yafulumizibwa aba Kinetic Management Group, 40-Plus Productions, Savannah MOON
How We See It Muteeseteese, dayilekita, pulodyusa Ugandan talk show
2012 The Life (Feature film) Dayilekita, pulodyusa Nana Kagga Yafulumizibwa aba Savannah MOON .

Awaadi ze yafuna kyusa

Awaadi n'empaka z'eyetabamu
Omwaka Awaadi Ettuluba Emirimu Eby'avaamu Ref
2023 Uganda Film Festival Awards 2023 Omuzannyi asinze mu filimu Pieces of Me Yali omu ku b'avuganya
Omuzannyi asinze okuzannya ku sikuliini Yali omu ku b'avuganya
Asinze mu ba pulodyusa Mukisa Yawangula
Pulodyusa asinze Yawangula
Pulodyusa asinze mu kufulumya filimu ey'olulimi oluzaaliranwa Yali omu ku bavuganya
Pulodyusa asinze ng'alondeddwa abawagizi Yali omu ku bavuganya
Asinze okutunga eby'ambalo Yali omu ku bavuganya
Best Screen-play Yali omu ku bavuganya
2022 Uganda Film Festival Awards 2022 Omuzannyi asinze Nalwawo [14]
Filimu esinze ng'eri mu lulimi lu nnansangwa Template:Won
2021 Uganda Film Festival Awards 2021 Omuzannyi asinze mu kazannyo akalagibwa ku TV Prestige [15]

Ebijuliziddwa kyusa

  1. https://web.archive.org/web/20201019194935/https://chano8.com/star-profile-nana-kagga-round-dreamer-changing-face-television/
  2. https://web.archive.org/web/20150508041357/http://kampalasun.co.ug/nana-kagga-parades-boo/
  3. http://www.satisfashionug.com/new-star-studded-tv-series-to-hit-screens-in-8-weeks/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-08-28. Retrieved 2024-04-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://muwado.com/interview-with-nana-kagga-of-the-life/
  6. http://buqisi-ruux.com/if-you-give-yourself-permission-to-dream-you-will-be-amazed-at-what-you-can-achieve-nana-kagga-macpherson-africanwomanoftheweek/
  7. https://web.archive.org/web/20201102033729/http://www.ugandandiasporanews.com/2012/07/15/the-life-official-movie-trailer-directed-by-nana-kagga-hill/
  8. https://web.archive.org/web/20160920053647/http://chimpreports.com/entertainment/beneath-the-lies-nana-kaggwa-ready-to-burst/
  9. https://www.ugandaonline.net/2018286_five_2018_miss_uganda_beauty_pageant_judges_unveiled
  10. http://www.backstage.com/news/butterflies-of-uganda-debuts-at-greenway-court-theatre/
  11. http://www.backstage.com/review/la-theater/butterflies-of-uganda/
  12. https://web.archive.org/web/20170824135605/https://jump.ug/lifestyle-n-entertainment/nana-kagga-her-experience-in-the-ugandan-film-industry-jump-uganda
  13. https://web.archive.org/web/20201102071348/http://www.ugandandiasporanews.com/2014/12/09/dont-miss-beneath-the-lies-tv-series-created-by-nana-kagga-macpherson-premieres-dec-17th/
  14. https://www.newvision.co.ug/articledetails/135437
  15. https://observer.ug/lifestyle/69233-nana-kagga-samuel-kizito-win-in-film-awards

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya kyusa