Nandagire Christine Ndiwalana

Nandagire Christine Ndiwalana munabyabufuzi Omunayuganda. Yalondebwa mu Paalamenti mu kalulu ka bonna aka 2021, nga Omubaka wa Paalamenti okuva mu kibiina kya National Unity Platform akiikirira Bukomansimbi eya Bukiika ddyo mu Disitulikiti ya Bukomansimbi .[1][2]

Hon. Dr. Ndiwalana Christine Nandagire

Obulamu bwe

kyusa

Nandagire Christine Ndiwalana alina Diguli mu by'edagala n'okulongoosa gyeyakuna okuva ku Yunivasite y'e Makerere.[3] Mu kusooka yali amannyikiddwa nga Christine Nandagire, wabula oluvannyuma n'akyusa erinya lye nerifuuka Nandagire Christine Ndiwalana olw'ekiwandiiko ky'amateeka mu 2018.[4]

Mu Gwomunaana mu 2019 yalangirirwa ng'eyali agenda okwesimbawo ku lw'ekibiina kya Democratic Party okuvuganya ku ky'Omubaka wa Bukomansimbi eya Bukiika Ddyo mu Disitulikiti ya Bukomansimbi.[3]Oluvannyuma yagenda okwegata ku kibiina kya National Unity Platform. Oluvannyuma lw'obutabanguko obwali munda mu kibiina kya National Resistance Movement ekyaleeta enjawukana mu bitundu, [5] yawangula eyali mukifo kino Omubaka Ruth Katushabe okulondebwa ku ky'Omubaka wa Paalamenti okuva 2021 okutuuka mu 2026.[1][6][7][8]

Ebijuliziddwaamu

kyusa