National Enterprise Corporation FC
National Enterprise Corporation FC ng'era emannyikiddwa nga NEC FC, kiraabu y'omupiira eya Uganda eyatandikibwaawo mu 2017 mu Bugolobi mu Kampala.[1][2][3] Ezannyira mu kibinja kya Uganda eyababinyweera.[4][5][6]
Ebigikwatako
kyusaNEC FC baagitandikawo mu 2017 era nebagisumuusa okugenda mu kikya FUFA ekya liigi ey'okutaano mu 2018 wansi w'ekibiina ekitwala omupiira e Nakawa.[7]
Mu 2019, NEC FC yasumusibwa okugenda mu kibinja kya Kampala ekya ligyonolo okuva mu kibinja eky'okuna, oluvannyuma n'genda mu kibinja kya Uganda eky'okutaano ekiyitibwa FUFA Big League mu 2022, ng'eno gyeybakwatira ekifo eky'okusatu ku kimeesa kya liigi ekyabavirako okubeera nga baasumusibwa okuyingira ekibinja kya Uganda ekyababinyweera.[7]
NEC FC yasumisibwa okugenda mu kibinja kya Uganda ekyababinyweera mu sizoni ya 2023/24, omulundi ogwaali gusookera ddala oluvannyuma lw'okumalirizi mu kifo eky'okusatu ku kimeeza mu mpala z'Ekibinja Kya Uganda ey'okubiri nga bakungaanyiza obubonbero 57 okuva mu mipiira 30 egyazannyirwa,[8][9][10][11][12] Julius Walugembeyateeba ggoolo bbiri ng'ali wamu ne Marvin Kavuma ne Tonny Kiberu abaateeba ggoolo emu buli omu nezibeera nnya ekyabawa obuwanguzi wamu n'okusumuzibwa.[2]
Ebikwata ku kiraabu
Mu Gwokutaano, 2024.[13]
Ssentebe - Brian Muhanda
Akulira eby'emirimu - Ahmed Rajab Sakali
Kapiteeni - Marvin Kavuma
Omutendesi-Hussein Mbalangu
Webakyaliza -Philip Omondi stadium, e Lugogo
Ekisaawe
kyusaNEC FC yali ekozesa kisaawe kya Coffee, ekisingaanibwa e Bugolobi nga webaali bakyaliza mu biseera webaali mu kibinja kya Uganda eky'okubiri mu sizoni ya 2022/2023.[1][14][15] Webaasumusibwa okuyingira mu kibinja kya Uganda ekyababinyweera, NEC FC ekozesa ekisaawe kya MTN Omondi Stadium nga amaka gaabwe webakyaliza.[15]
Abazannyi
kyusaOkuva mu Gwokutaano, 2023[16]
Enamba eri ku mujoozi gw'ayambala | Ekifo | Eggwanga | Abazannyi |
---|---|---|---|
35 | GK | UG | Okiria Micheal |
06 | DF | UG | Sulaiman SSesaazi |
07 | MF | UG | Tevin Kevin Kyeyune |
08 | MF | UG | Marvin Kavuma |
09 | FW | UG | Geoffrey SSerunkuuma |
11 | FW | UG | Farouq Sekaayi |
12 | MF | UG | Ivan Kamoga |
13 | MD | UG | Shamir Kimwero |
15 | DF | UG | Angello Ssempijja |
16 | DF | UG | Innocent Assimwe Ramos |
Byebawangudde
kyusaByebatuseeko | Emyaka |
---|---|
Ekibinja kya Uganda ekyababinyweera | 2023–24 |
Ekibinja kya Uganda eky'okubiri | 2022–23 |
Ekibinja eky'okuna ekidukanyizibwa FUFA | 2019–20 |
Ekibinja eky'okutaano ekidukanyizibwa FUFA | 2018–19 |
Likodi zaabwe
kyusaEmpaka
kyusaNEC FC yayitamu okugenda ku mwetoloolo ogwa ttiimu 64 ogw'okuna ogw'empaka za 2022–23 eza Stanbic Uganda Cup, ng'eno gyebazaanyira Pajule Lions mu maka gaabwe mu Pader , abaali bakyazizza nebawangula 1-0.[17][18]
Gwebaali bazannya | Liigi | Ggoolo ezaalimu | Ekisaawe | Ebijuliziddwamu |
---|---|---|---|---|
Mbarara City FC Vs NEC FC | Ekibinja kya Uganda ekyababinyweera | 0–1 | Kakyeka Stadium | [4][19] |
Pajule Lions FC Vs NEC FC | Empaka za Stanbic Uganda Cup | 1–0 | Pajule P/S – Pader | [18][20] |
NEC FC Vs Jinja North United | Ekibinja kya Uganda eky'okubiri | 0–0 | [21] |
Laba bino
kyusaEbijuliziddwaamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_155531
- ↑ 2.0 2.1 http://kawowo.com/2023/05/18/nec-secure-final-promotion-slot-to-uganda-premier-league/
- ↑ https://www.pulsesports.ug/football/story/nec-set-to-snap-wakiso-giants-coach-ayala-2023052914534246746
- ↑ 4.0 4.1 https://www.ntv.co.ug/ug/news/sports/uganda-premier-league-nec-joins-bul-fc-and-kitara-as-day-one-winners-4370488
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_171459
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/BUK_140848
- ↑ 7.0 7.1 https://necfcuganda.com/history/
- ↑ https://www.pulsesports.ug/football/story/nec-to-conduct-open-trials-mbalangu-confirms-2023070316033343224
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_155060
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_154895
- ↑ https://bulfc.co.ug/club/nec-fc
- ↑ https://sports.mtn.co.ug/2023/05/18/nec-gains-promotion-to-uganda-premier-league/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/soccer/season-preview-mbalangu-seeks-to-keep-nec-afloat-4358886
- ↑ https://www.pulsesports.ug/football/story/newly-promoted-nec-fc-secure-new-home-ground-for-next-season-2023060109323441605
- ↑ 15.0 15.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_155580
- ↑ https://necfcuganda.com/players/
- ↑ https://chimpreports.com/uganda-cup-police-fc-draws-apuutun-on-round-of-64/
- ↑ 18.0 18.1 https://chimpreports.com/uganda-cup-kitara-propels-to-round-of-32-nec-fc-northern-gateway-bow-out/
- ↑ "Mbarara 0–1 NEC FC (Sep 15, 2023) Final Score". ESPN (in Lungereza). Retrieved 2023-10-14.
- ↑ "Uganda Cup Round of 32 Draws Held". ChimpReports (in American English). 2023-02-10. Retrieved 2023-10-14.
- ↑ https://chimpreports.com/fbl-police-fc-subdues-kaaro-karungi-nec-held/