Navio (akuba ennyimba z'okufubutuka ebigambo)

  Daniel Lubwama Kigoz gwebasinga okumannya nga Navio yazaalibwa nga 18 Ogwekumi mu 1983[1], nga munayuganda ayimba ng'afubutuka ebigambo n'okufulumya ennyimba. Ng'atandika olugendo lwe yali omu ku kibiina kya Klear Kut ekyawangula awaadi nga kino kyekyaleeta n'ekigambo kyebayita "Ugaflow" okunyonyola engeri muziki wa Uganda ow'ekika kya ''hip hop'' gy'atambulamu. Navio asinga kumannyikwa ku nyimba lwe olwa kwata abantu omubabiro okuli "Ngalo", "Bugumu", "One & Only", ne "On and On" (ng'ali n'omuyimbi w'ennyimba za R&B okuva mu Amerika Keith Sweat.[2][3]

Okuva mu 2010, Navio abadde omu ku kibiina kya Afika eky'enjawulo ekimannyikiddwa nga One8. Abamu kubakirimu kuliko 2Face omunayigeria, Fally Ipupa waowa D.R. Congo, 4x4 ow'e Ghana, Movaizhaleine ow'e Gabon), JK omuzambia, n'abala okuva mu buvanjuba bwa Afrika okuli; Amani omunakenya ne Ali Kiba okuva e Tanzania. Oluyimba lwebasooka okufulumya bonna nga bali mu kibiina kino baali baluyita "Hands Across the World", olwa wandikibwa nerufulumizibwa R. Kelly.


Mu 2014, yali omu kubayimbi abakozesebwa mu sizoni ey'okubiri ey'empaka za ''Coke Studio Africa''.[4][5]

Obulamu n'engeri gyeyatandira eirimu gye

kyusa

Ng'akyali mwana

kyusa

Navio yazaaliba yiginiya Daniel Serwano Kigozi n'omusawo Dr. Maggie Kigozi Blick. Y'asinga obuto ku baana abasatu nga mukulu mulenzi n'omuwala.[6] Nasale ye yagisomera ku Entebbe Church Nursery gyeyava okugenda ku St. Andrews mu Kenya gyeyasomera pulayimale. Omuyimbi ono yeegata ku Aga Khan Secondary school ne ISSA (International school mu South Afrika) gyeyasomera siniya. Navio yatikirwa ku Monash University ng'eno gyeyasomera ebikwatagana ku bifa munsi n'eby'amawulire.[7]

Atandika emirimu gye

kyusa

Ng'akula, Navio yali awuliriza nnyo muziki nga mwemwali n'owa mukulu we gweyakungaanya nga nadala eyali ku bafubutuka ebigambo okuva mu bayimbi nga Run-D.M.C, MC Hammer, Vanilla Ice neba Beastie boys, ng'era yageza ngako nnyo okubageegeenya.[8] Ng'alina emyaka 10, maama we yamuwulira ng'ayimba bw'afubutuka ebigambo bweyali mudiiro, n'amutuukirira n'amubuuza oba yali afubutuka ebigambo nga Vanilla Ice. Yali musanyufu nnyo ekyamuleetera okumutwala mu situdiyo gyebayita Baava nga nannyini yo yeyali Hope Mukasa, okusobola okulikoodiinga oluyimba.[9]

Ekibiina kya Klear kut

kyusa

Ku myaka 16, Navio yatandikawo ekibiina ky'abayimbi kyebayita Klear Kut, ne mikwano gye enna egyamuli ennyo kulusegere okwali; Tom "Tha Mith" Mayanja, Jonathan "J-Baller" Leslie, Abba "Langman" Lang, ne Habib Abdul Hussein gwebaali baakazaako erya Papito. Olutaambi ekibiina kino lwebaasooka okufulumya kwaliko; ''Mind, Body and Soul" mu 2000, lwali lw'amaanyi nnyo kuba yaleeta ennyimba okuli; "All I Wanna Know" nga bali ne Juliana, "Remember", ne "Let's Get It on".

Ekibiina kino kyayamba okutuumbuula n'okubunyisa muziki ekika kya hip hop mu Uganda.[10]

Mu 2002, Klear Kut yafuuka ekibiina ekyasooka okufuna okulondebwa ku ky'okuweebwa awaadi ya Kora award, ng'eno baalondebwa ku ky'okubeera abayimbi abaali bawa esuubi nga bakajja mu kisaawe ky'okuyimba, n'abayimbi abaali beewunyisa mu mwaka ogwo. Mu mwaka ogwaddako, ekibiina kino kyafulumya olutaambi lwebaali bayita K2 nga luno lwerwali olw'okubiri. Wadde terwali lw'amaanyi ng'enzaasooka, lwafulumya oluyimba olwakwata abantu omubabiro lwebayita "Mon Coeur 'Murder of Crows'", nga bali wamu ne Rania, n'olwa nyumira abawagizi nebaluddamu nga bali ne Bebe Cool lwebayita "Superstar".

Oluvannyuma baafuna ekirabo kya PAM Award mu 2004 olw'okubeera ekibiina ekyasinga ku mutendera gwa Hip hop.[11]

Emirimu emirala gy'akoze oluvannyuma

kyusa

Nga tanaba kugenda mu South Afrika, Navio yawandika n'okukwata oluyimba lwebaali bayita "Rukus" n'omuyimbi okuva mu Uganda gwebayita Peter Miles. Oluyimba luno lwagenda mu maaso nerufuuka olumu ku nyimba ez'etutumu mu mubulamu bwe obw'okuyimba. Baalukuba ku sizoni ya Big Brother Africa ey'okusatu eyali esembayo mu 2008, oluvannyuma lw'emyaka ena nga balufulumiza. Mu kuyimirizaamu mu kuyimba kwe, yayitibwa ng'abayimbi abalala ebiseera ebisinga okukwata ennyimba ng'ekibiina ky'abawala bokka kyebayita Blu*3 mu luyimba lwebayita "Burn" mu 2007, olwa Jemimah Sanyu lwebayita "Amaaso go googera" mu 2011 n'endala nyingi.

Navio mu butongole yakomawo mu kisaawe ky'okuyimba mu 2008 oluvannyuma lw'okutikirwa ne diguli mu by'empuliziganya kutabi lya yunivasite ya Monash e South Afrika. Olutaambi lwe olwasooka baali baluyita, Half the Legend qlwaafulumizibwa mu 2009 nerufuna endowooza enungi okuva mu baali baluwakanya n'abaluwuliriza, ekyamuleetera okufulumya ennyimba okuli "Bugumu", "Salooni" ng'ali ne GNL Zamba, "Ngalo", ne "Respect" ng'akiu n'omuyimbi okuva e Kenya, Jua Kali. Yaliko ne muluyimba lwa Bobi Wine lwebayita "Badman from Kamwokya". Olutaambi luno lwamuweesa ekirabo ky'omuyimbi eyali asinga okukuba ennyimba za 'Hip hop' ku mukolo gwa 'Pearl of Africa Music Awards' n'alondebwa ne kubaali bagenda okuvuganya ku y'e Kenya gyebayita Kisima Music Awards ku ky'omuyimbi omusajja eyali asinga, vidiyo y'oluyimba eyali esinga, n'omuyimbi wa Hip hop eyali asinga.[12]

Engeri gy'ayimbamu

kyusa

Abasunsunla muziki banyonyola ebivuga bya Navio n'engeri gy'ayimba okubeera nga yanjawulo gy'otayinza kusisinkana walala wonna.  

Awaadi ne byebamulonze okubeera ng'aweebwa

kyusa
Omwaka Omukolo Ekirabo Ebyavaamu Ebijuliziddwamu
2016 Buzz teeniez Awards Teeniez Role Model Yawangula

Muziki we

kyusa
  • Half A Legend (2009)
  • AFRICAN Hustler Music (2010)
  • Pride (2014)
  • The Chosen (2015)
  • Strength In Numbers (2020)

Vidiyo zze

kyusa
Omwaka Erinya Eyalukwata Ebijuliziddwamu
2015 Work It ng'ali ne Dr SID Template:N/A
2015 Kigozi Jim Resley

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-07. Retrieved 2023-07-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.youtube.com/watch?v=05mAcuuMyoY
  3. http://www.howwe.biz/73/on-and-on/50/navio.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-06. Retrieved 2023-07-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://www.cokestudio.co.ke/en_KE/season2/navio.html?WT.cl=1&WT.mn=Navio
  6. http://allafrica.com/stories/201412160732.html
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-07. Retrieved 2023-07-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-07. Retrieved 2023-07-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-07. Retrieved 2023-07-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://www.ubetoo.com/navcorprecords
  11. http://www.ubetoo.com/navcorprecords
  12. https://en.wikipedia.org/wiki/Monash_University