New Vision (olupapula lw'amawulire)

  

Gervase Ndyanabo
Gervase Ndyanabo, amyuuka akulira kampuni ya Vision group

New Vision a lupapula lwa mawulire oluweerereza mu luzungu nga lusangibwa mu Ugandan nga lufuluma buli lunaku mu kyapa ssaako n'omutimbagano.[1]


Okutwaliza awamu

kyusa
 
Rogers Anguzu, akulira ebyakituunzi mu Vision group

New Vision lwe lumu ku mpapula z'oluzungu ebbiri ezisinga obunene mu Uganda, olulala nga lwe lwa Daily Monitor. Lukubibwa mu kyapa ekitongole kya Vision Group, ekirina ekitebe kyakyo ekikulu mu kibangirizi kya bannamakolero First Street mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene mu ggwanga lino ery'obugwanjuba.[2]

 
Lorraine Tukahirwa, akulira ebyakituunzi n'empuliziganya mu Vision Group
 
Don Wanyama, akutte ekikopo nga y'akulira kampuni ya Vision Group

Ebyafaayo

kyusa

Yatandikibwawo mu ngeri efaanana bweti mu 1986 Gavumenti ya Uganda. Lwatandikibwawo mu 1955 nga Uganda Argus,[3] ne Gavumenti y'abafuzi b'amatwale ey'Abangereza. Wakati w'omwaka 1962 ne 1971, Gavumenti ya Obote eyasooka yakuuma erinnya lyayo ly'efulumizaako amawulire Uganda Argus. Oluvannyuma lwa Idi Amin okujja mu buyinza mu1971, olupapula lwa Gavumenti lwakyusibwa erinnya ne lutuumibwa "Voice of Uganda" ekivvunulwa nti eddoboozi lya Uganda. Amin bwe yasindikirizibwa okuva mu buyinza mu 1979, Gavumenti ya Obote ey'okubiri yatuuma olupapula luno erinnya eddala nga Uganda Times. Gavumenti National Resistance Movement bwe yalya obuyinza mu 1986, erinnya ly'olupapula luno lwakyusibwa okudda ku New Vision. Uganda Argus n'abasika bonna baakikirira olupapula oluggya ng'abakungu mu Gavumenti empya.[2]

Vision Group

kyusa

  Vision Group kati kitongole kyetengeredde ekiyitibwa "the New Vision Printing & Publishing Company Limited (NVPPCL)", eyatandika mu gwokusatu 1986. Kkampuni eyegatta okuweereza ebintu bingi nnyo mu by'amawulire nga ekuba empapula z'amawulire, Obutabo bwa Magazini, n'ebintu bingi ebikolebwa ku mutimbagano. Kkampuni eno erina Ttivvi ez'enjawulo, Leediyo ezifulumya pulogulamu ezaddala. Okugattako, NVPPCL ekola ne kubiwandiiko ebisasulire n'obulango. NVPPCL eteekebwa ku lukangaga nga kkampuni y'emigabo gya Uganda abasuubizi gye bakozesa akabonero ka NVL.[4]

Obukulembeze

kyusa

Nga 12 Ogwekkumi 2006, William Pike, Ssenkulu w'olupapula yalekulira n'agobererwa eyali omukungaanya omukulu David Sseppuuya nga wiiki bbiri tezinnawera.[5] Pike yalina ebyafaayo eby'omuzinzi ku lupapula luno, we yatandikira nga munnabyamizannyo emyaka 19 emabega. Pike assibwamu nnyo ekitiibwa olw'okukuuma olupapula luno nga olusinga okubeere olupapula olw'etengeredde mu kukungaanya amawulire. Kigambibwa nti mu 2006 eddembe ly'amawulire bwe lyali mu katyabaga Pike yawalirizibwa okulekulira ku lwa amaanyi agaava ew'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.[6]

Okuvaawo kwa Pike kwaleetera okulondebwa kw'omwogezi wa Gavumenti Robert Kabushenga nga Ssenkulu wa kkampuni.[7] Okutuukira mu gwomusanvu 2014, Kabushenga yali akyali Ssenkulu.[8]

Ogwekkumin'ogumu nga guggwaako mu 2006, Munnamawulire ate nga mulwanirizi wa ddembe ly'obuntu okuva mu ggwanga lya Belgium Els de Temmerman yafuuka omukungaanya ow'okuntikko oluvannyuma lw'okulondebwa nga omulwanirizi w'eddembe lya bannamawulire.[9] Omukyala ono yalekulira ekifo kye nga 24, ogwekkumi 2008, bwe yayogera mu bigambo bye nti, " Ndekulidde kubanga sikyasobola kubalirwa ku bye nasuubizibwa okukola bwe nnali mpeebwa omulimu guno". Mu gwokubiri 2009, Els de Temmerman yakomawo ng'omukungaanya omukulu oluvannyuma lw'ekiseera kya myezi ena ng'alekulidde ekifo ekyo.[10] Yalekulira byaddala wakati w'ogwokuna 2010,[11] n'asegulira eyali amumyuka, Barbara Kaija, oluvannyuma eyalondebwa ng'omukungaanya ow'okuntikko.[8]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-18. Retrieved 2022-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 http://allafrica.com/stories/200705020734.html Cite error: Invalid <ref> tag; name "Prof" defined multiple times with different content
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/Mark_Barrington-Ward
  4. https://www.use.or.ug/listed/nvl
  5. http://allafrica.com/stories/200610270188.html
  6. http://allafrica.com/stories/200610230129.html
  7. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/6043834.stm
  8. 8.0 8.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-18. Retrieved 2022-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name "In" defined multiple times with different content
  9. https://web.archive.org/web/20140714124022/http://www.newvision.co.ug/D/8/20/535270
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-18. Retrieved 2022-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://en.wikipedia.org/wiki/The_Independent_(Uganda)

Eby'ebweru

kyusa

Template:Kampala District