Nicholas Opiyo

Omulwanirizi w'eddembe ly'abantu mu Uganda

Nicholas Opiyo Munnayuganda, munnamateeka omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu, mukubi w'akakuyege ku ddembe ly'abantu ku nsonga ez'enjawulo n'omwenkanonkano ne ebbeetu mu by'obufuzi. Y'akulira Chapter Four Uganda.[1][2][3]

Nicholas Opiyo

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Opiyo yakulira mu Gulu eky'Obukiikakkono bwa Uganda mu biseera by'olutalo olwali wakati wa Gavumenti ya Uganda n'abayeekera ba the Lord's resistance army ekya Joseph Kony. Bangi ku mikwano gye omwali n'ebannyina bawambibwa abayeekera okuweereza ng'abaddu, basirikale, era abakozi. Mwanyina yamala emyaka 8 mu mikono gy'abayeekera nga tannatoloka.[3]

Opiyo lumu yayatula nti yali atya okwebaka mu nnyumba era n'asalawo okusula ku nguudo. Embeera eno yonna yamuwa obwagazi okulwanirira eddembe ly'obuntus.

Yasoma Diguli ye esooka mu mateeka eya bachelor's of law (LLB) okuva ku Uganda Christian University mu 2004 ne Dipuloma ey'enyongereza mu kutaputa amateeka eya post graduate diploma in legal practice okuva ku Law Development Center Kampala mu 2005.

Emirimu gye

kyusa

Opiyo emirimu gye egitunuliza nnyo ddembe ly'abantu neby'obufuzi naddala; amateeka g'ebyokulonda, ebikugira abantu okukola enkugaana ez'enjawulo, eddembe okwogera, n'eddembe ly'abannamawulire.[4]

Era amanyikiddwa olw'okukiikirira n'okuwa obuyambi eri abasiyazi mu Uganda.[5]

Mu 2013, Opiyo yatandikawo Chapter four Uganda okuvujirira eddembe ly'obuntu mu Uganda.[6]

Opiyo yali mmeba ku tiimu y'abakugu mu banonyereza b'ekibiina y'amwanga amagate ekya United Nations ku ddembe ly'obuntu, enkugaana ez'emirembe n'enkolagana okutuusa mu 2017.

Era ye sentebe w'akakiiko akakulembera action aid Uganda,[7] Mmemba ku kakiiko akawabuzi ku ddembe ly'obuntu benetech, a silicon valley human rights and tech company based in palo Alto mu California ne African middle eastern leadership project (AMEL), a Washington DC based think and action group.[8]

Awaadi

kyusa

Mu 2017, Opiyo yafuna ekirabo ekya German Africa prize era ne mu 2015 yawangula awaadi ya the Voices for justice award okuva mu Human rights watch. Era mu 2015, ye yawangula Awaadi ya the Alison Des forges Award nga omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu asukkulumye. Era yawangula ekirabo kya European Union parliament Sakharou fellows prize mu 2016.[9][10]

Opiyo yawangula ekirabo kya the 2021 Human rights Tulip prize ekyatandikibwawo Gavumenti ya Dutch mu 2008 okuwangira abalwanirizi b'eddembe okuteeka omulimu gw'abwe mu kikangaala n'okwegombesa abalala.[11][12]

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. https://carrcenter.hks.harvard.edu/people/nicholas-opiyo
  2. https://www.frontlinedefenders.org/en/case/arrest-advocate-nicholas-opiyo-and-four-colleagues
  3. 3.0 3.1 https://www.dw.com/en/nicholas-opiyo-ugandas-rebellious-rights-lawyer/a-56047233
  4. https://www.independent.co.ug/nicholas-opiyo-let-me-take-a-break/
  5. http://www.theguardian.com/global-development/2020/dec/24/uganda-charges-leading-lawyer-for-lgbt-rights-with-money-laundering-nicholas-opiyo
  6. https://www.deutsche-afrika-stiftung.de/en/deutscher-afrika-preis/nicholas-opiyo/
  7. https://actionaid.org/news/2020/actionaid-international-condemns-arrest-nicholas-opiyo
  8. https://www.amelproject.org/nicholas-opiyo
  9. https://www.movedemocracy.org/person/nicholas-opiyo
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-22. Retrieved 2023-05-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://www.government.nl/latest/weblogs/behind-the-scenes-of-the-human-rights-tulip/2021/ugandan-human-rights-lawyer-nicholas-opiyo-awarded-human-rights-tulip-2021
  12. https://ugandaradionetwork.net/story/nicholas-opiyo-wins-ugx-400-million-human-rights-tulip-2021-award