Njeru kibuga mu Disitulikiti y'e Buikwe, mu masekkati ga Uganda . Kye kibuga ekisinga obunene mu disitulikiti eno. Okusinga kibuga kya bantu abasulamu obusuzi. Wabula nga mulimu amakolero agenjawulo okugeza nga East African Packaging Solutions Limited, kkampuni ekola ebintu ebipakiddwa mu mpapula, Nile Breweries Limited, kkampuni ya AB InBev ne Nyanza Textile Industries Limited (Nytil) ekola engoye. [2]

Njeru
Njeru, Uganda
Njeru, Uganda
Country Uganda
RegionCentral Region
DistrictBuikwe District
CountyBuikwe County
ConstituencyBuikwe North
Abakulembeze
 • Member of ParliamentKakoba Onyango
Elevation1,100 m (3,600 ft)
Abantu (2020 Estimate)
 • Total178,800[1]
SaawaEAT (UTC+3)

Ekifo

kyusa

Njeru esangibwa mu kilometres 38 (24 mi) obukiikakkono bw’obuvanjuba bwa Buikwe, awali ekitebe kya disitulikiti. [3] Ekifo kino kiri kilometres 7.5 (5 mi) mu bugwanjuba bwa Jinja wakati . [4] Njeru esangibwa emitala w’omugga kiyira okuva mu kibuga Jinja mu nkola y’emirimu kitundu kya kibuga ekyo. Endagiriro ya Njeru tawuni council ku maapu eri:0°25'52.0"N, 33°08'52.0"E (Latitude:0.431111; Longitude:33.147778). [5]

Emirimu gy’ebyenfuna

kyusa

Njeru erimu amakolero agenjawulo ne bizinensi eziwerako eziwa abantu abawera emirimu era nga kiyambye nnyo mu by'enfuna bya Uganda . Agamu ku makolero ge gano: [5]

1. 1. . Nile Breweries Limited, kkampuni ya SAB Miller, nga ekitebe kyayo kiri mu South Africa era nga essibuka AB InBev eya Bubirigi

2. 2. . Nalubaale Power Station - Installed Capacity 180 MW, nga eno ekulirwa gavumenti ya Uganda. Eddukanyizibwa wansi w’emisoso okuva mu kkampuni ya Eskom (Uganda), kkampuni ya Eskom

3. 3. . East African Packaging Solutions - Omukago gwa 50/50 oguli wakati wa Madhvani Group ne Graphic Systems Limited. [6]

4. 4. . Nile Vocational Institute - Ettendekero ly'ebyemikono eririmu abayizi abasoba mu 100 eryatandikibwawo ekitongole ky'obwanakyewa ekigabi kyobuyambi ekya Girimaani Kindernothilfe

5. 5. . Vitafoam Industries - Ekkolero ly'emiffaliso.

6. 6. . Njeru Stock Farm - nga eno edda yali ffaamu ya gavumenti ey’obulunzi, naye nga kati ekozesebwa nga nkambi y'amagye.

7. 7. . Nytil Picfare - Ekkolero ly'engoye erisingairaddala obunene mu Uganda, nga lino likozesa ppamba alimibwa abalimi babulijjo mu ggwanga. [2]

Eby'entambula

kyusa

Enguudo zombi Kampala-Jinja Highway olukadde n’oluguudo olupya olwa Kampala–Jinja Expressway, ziyitiraddala mu Njeru era nga ezo kitundu ku kkubo erigenda mu bukiikakkono bw’oluguudo lwa Trans-Africa Highway. Oluguudo lwa Kampala–Jinja Expressway lugattira ddala ku Source of the Nile Bridge e Njeru. [7]

Obungi bw'abantu

kyusa

Mu mwaka gwa 2014, okubala abantu mu ggwanga lyonna kwalaga nti Njeru erina omuwendo gw'abantu159,549. Mu mwaka gwa 2020, UBOS yatebereza nti omuwendo gw’abantu mu Njeru gwali 178,800. Ekitongole ekibala omuwendo gw’abantu kyalaga nti omuwendo gw’abantu mu bibuga buli mwaka gukulira ku bitundu 1.97 ku buli 100 buli mwaka, wakati w'omwaka gwa 2014 ne 2020. [1]  https://en.wikipedia.org/wiki/List_of_cities_and_towns_in_Uganda

Laba nebino

kyusa

Ebiwandiiko ebikozesebwa

kyusa

Ebiyungo eby’ebweru

kyusa

  Njeru afuna obuyambi okuva mu kibiina kyobwanakyeewa eky'aba canada