Nnakyemalira, mu by'obufuzi, ye muntu akozesa eryanyi erisukkiridde nga ayita mu bantu abasaamusaamu okusobola okufuga eggwanga. Ebiseera ebisinga, amagye gatera okukozesebwa okusobola okuteeka mu nkola ebyo ebiba bisaliddwawo okuva mu kwagala kw'abantu ssekinnoomu.

THE DICTATOR LOGO

Mu kyasa kino, ekigambo 'omufuzi' kitera okukozesebwa okutegeeza nnakyemalira, wadde nga omufuzi aba yalondebwa mu bulambulukufu (ng'omukulembeze yenna) wabula n'asalawo okukozesa obuyinza bwe mu ngeri enyigiriza b'atwala, era eya kiyitamuluggya.

Ebyafaayo

kyusa

Obwannakyemalizi[1] bwatandikira mu bwakabaka bwa Roma, e Yitale. Ekiseera ekyo, ekigambo kino tekyalimu makulu ga ntiisa olw'okubanga nnakyemalira yassibwangamu n'obwesige olw'obukambwe bwe yabanga nabwo mu kwennganga abalabe b'ekibuga, n'okusalirawo abantu be ekyo kye yalabanga nti ky'ekisinga.

Era yagererwanga akadde k'obuweereza okuva mu Lukiiko Olukulu, olwasigazanga obuyinza obutonotono ku bikolwa bye. Omulamwa gw'obwannakyemalizizi okutandika okukyuka n'okutuusa leero, lyali ddaaza lya 27 BC; omwami Lucius Junius Brutus bwe yamaamulako Lucius Tarquinius Superbus[2] era n'abeera kabaka eyasembayo eruuyi eyo.

Obubonero

kyusa

Kiba kizibu omuntu okwekakasaako obwannakyemalizi era abasinga bazze beeyita bakulembeze. Ng'oggyeeko okulwana obwezizingirire okulongoosa ebifaananyi byabwe mu mawanga ag'ebweru, okunoonyereza kusinze kukolebwanga bannamawulire okusobola okulambika ekituufu ekiba mu nsi zaabwe.

Ebiranga bannakyemalira mulimu: okukola omujjuzo gw'abennganda zaabwe mu bifo eby'enkizo, nga mu Bukiiko bw'Eby'okulonda; okutulugunya n'okumiza omukka omusu obo ababa basuubirwa okubavuganya; okuggyako eby'empuliziganya mu kulonda oba okuggalaggala amawanga; n'obutagoberera mateeka agaba gaabagibwa ku nzirukanya y'ebintu.[3]

Ab'ettutumu

kyusa

Okuva ensi gy'evudde naddala mu kiseera ky'okuwandiika ebintu eby'enkizo we kyatandikira, bannakyemalira nkuyanja bazze babaawo okwetooloola zi ssemazinga okusingira ddala ey'Abaddugavu n'ey'Abeeru, weewo awo nga waliwo abaasukkuluma ku balala. Kisoboka okuba nga baafugira emyaka mitono, wabula obunene bw'ebyo bye baakola bye bibaleetera okujjukirwa.

1. Mao Zedong

Wadde nga yali musaale mu kutumbula eddembe ly'abakyala, obujjanjabi n'eby'ensoma by'abaana ebisookerwako my Kyayina; Zedong akyatendwa okulinnyirira eddembe ly'obuntu okutwaliza awamu era yakazibwako erya Chairman. Yatandikawo eggwanga eryo nga Republic (erya bonna) okuliggya mu bwakabaka bwalyo ng'ayita mu kibiina kye, Chinese Communist Party, ekyatandikibwawo mu 1921 – n'afuga okuva mu 1954 ppaka mu 1976.[4]

2. Adolf Hitler

Ono yafuga Bugirimaani okutuusa okufa (1933-1945), wadde nga yali nzaalwa ey'e Australia. Ekimussisa ku mwanjo Ku lukalala luno, kwe kubanga ye yali kazaalabulwa owa Ssematalo Ow'okubiri omwafiira abantu obukadde 45. Yalagira eggye lye okukola olulumba ku Polandi nga 1 Mutunda, 1939; n'ekigendererwa eky'okugifuula ekitundu ku ggwanga lye — olwo ne yeekyusiza buli yenna eyagezangako okumuwabula.

3. Augusto Pinochet

Oluvannyuma lw'okuwamba Chile mu 1973, obwannakyemalizi bwe yabutambuliza ddala okumala emyaka 17 okutuusa mu 1990 wadde yawangaala ppaka mu 2006.[5] Naye tayinza kubuusibwa maaso olw'obukulembeze bwe obwajjuza abantu ebiwundu ku mitima era Ekibiina Ky'amawanga Amagatte, UN; kyalina okubbula mu nzigu y'okufa kwe Olunaku Lw'eddembe Ly'obuntu (Human Rights Day), olwa Ntenvu 10.

Abakyaliko

kyusa

2022 w'aggweereddeko, waliwo amawanga 50 agakyafumbekeddemu obwannakyemalizi. Mulimu Yuganda erikyakosebwa olw'ebikolwa bino ebyaliwooko ne ku mirembe emikadde. Ng'otadde Idi Amin ku bbali eyafubutula abakyeruppe; Yoweri Museveni[6] (eyawamba mu 1986), akyagenda mu maaso n'okulifuga. Mu kwogerako n'emikutu gy'amawulire, agamba nti eriyo abamuyingirira wabula by'akola abimanyi.

Waliwo Cameroon nga nalyo liri ku lukalu lwa Afrika, erikulemberwa Paul Biya okuva mu 1982.[7] Equarial Guinea erikulemberwa Nguema Mbasogo (okuva mu 1979) ne DR Congo erya Joseph Kabira. Ebusukkansalo kwe kuli Russia eritwalibwa Vladimir Putin, Afghanistan erya Ashraf Ghani Ahmadzai ne North Korea erikyatwalibwa Kim Jong Un[8] eyasikira entebe oluvannyuma lw'okufa kwa kitaawe.

Omuwandiisi: Ibraheem Ahmad Ntakambi

  1. Douglas W. Simon, Joseph Romance, Necel Riemer (Gatonnya 2, 2019). The Challenge of Politics: An Introduction to Political Science (16th Edition). Q Press, ISBN: 978-1-544305950
  2. Tarquin, King of Rome: 534-509 BC: https://www.britannica.com/biography/tarquin-king-of-rome-534-509-BC
  3. Signs of a Dictator (How to stop Dictatorship); https://happyproject.in/signs-dictator/
  4. BBC - History - Mao Zedong: https://www.bbc.co.uk/history/historic_figures/mao_zedong.shtml
  5. Augusto Pinochet: https://www.smonitor.com/2006/1212/p0q601-woam.html
  6. Current Dictators – Planet Rulers: https://web.archive.org/web/20221218040814/https://planetrulers.com/current-dictators/amp/
  7. The 7 longest ruling dictatorships in the world: https://www.bigthink.com/politics-current-affairs/the-7-longest-ruling-dictatorships-in-the-world/
  8. Dictatorship Countries; https://www.worldpopulationreview.com/country-rankings/dictatorship-countries