Norah Bigirwa

Bigirwa Norah Nyendwoha

Yazaalibwa nga: 19 October 1968

Eggwanga: Munnayuganda

Obutuuze: Munnayuganda

Obukulu: Munnabyabufuzi

Ekifo: Mmemba wa Paalamenti


Norah Bigirwa-Nyendwoha (Yazaalibwa nga 19 Ogwekkumi / October 1968) Munnayuganda ate nga mubaka Omukazi mu Paalamenti. Mu 2016, Yalondebwa ng'omubaka Omukazi akiikirira Disitulikii Buliisa. Mu kulonda kwa Uganda okwa bonna okwa 2021 yaddamu okulondebwa akiikirire ekitundu kye kimu.[1][2]

Mmemba w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ki National Resistance Movement.[3]

Ebyokusoma kwe

kyusa

Mu 1992, Norah yatikkirwa Dipulooma mu byabizinensi (Business Studies) mu ttendekero lya National College of Business Studies erisangibwa e Nakawa.

Mu 1995, yatikkirwa era n'afuna satifikeeti mu by'okubala ebitabo (Accounting Technician Certificate) okuva ku ttendekero lya Uganda Management Institute. Era mu ttendekerolye limu gye yatikkirwa Dipulooma mu ssomo ly'ebyenfuna (Finance Officers Diploma) nga wayiseewo emyaka ena (4).[4]

Mu 2003, yatikkirwa Ddiguli esooka mu Ndejje University ng'afuna Ddiguli mu kuddukanya bizinensi (bachelor's degree of Business Administration).[5][6]

Obuvunaanyizibwa obulala

kyusa
Omulimu Ekitongole Ekiseera mwe yakolerayo
Mumyuka wa maneja A&M Executive Cleaning Services 2012-2015
Omubazi w'ebitabo (omukuukuutivu) Uganda Wildlife Authority 2003 - 2010
Omubeezi w'omubazi w'ebitabo District Health Services Project, Mukono District 1994-2003

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa

 

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2021-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.independent.co.ug/tag/norah-bigirwa-nyendwoha/
  3. http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=2803
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2021-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2021-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.internationalconservation.org/publications/caucus-lists/uptcc.pdf