Nsanyukira ekigambo kino lyrics
ebigambo okuva mu Ddoboozi
Verse 1
Nsanyukira ekigambo kino;
Yesu Mukama atwagala nnyo,
Alina ebingi ebisanyusa;
Naye ekisiinga nti, “nze nkwagala.”
CHORUS
Anjagala, ye anjagala;
Nga kitalo (O) kunjagala!
Anjagala, olw'ekisa kye,
Nange era mwagala.
Verse 2
Bwemba nnyonona
Nemmwerabira,
Yesu tandeka kubula ddala;
Ampita mangu okumweyuna Ye
Er(a) anjijukiz(a)
Okwagala kwe.
Verse 3
Bwe nditunuulira
Ekitiibwa kyo,
Ndiyimba ntya
Bwe siyimba bwentyo?
Nnyimba emirembe
n’emirembe;
Yesu kiki ekyakunjagaza nze?
Verse 4
Anjagala nange mmwagala Ye,
Yakka mu nsi
Olw’okwagala kwe;
(O)kwagala kwamuleeta
Ku muti,
Yesu atwagala ffe bwagazi