Nvumetta Ruth Kavuma abasinga gwebamannyi nga Ruth Kavuma munabyabufuzi omunnyuganda, okwegatira mu kibiina ky'abanabizineensi n'okuba omusomesa. Yeyamukyala omufirika eyasooka okukulira esomero lya Gayaza High School okumala emyaka 11 wakati wa 1990 ne 2002.[1][2] Oluvannyuma lw'okuba ku Gayaza High School,

Gayaza High School New Admin Block.

yayingira eby'obufuzi n'afuuka omubaka omukyala owa palamenti mu palamenti ey'omunaana eya Uganda ng'akiikirira disitulikiti y'e Kalangala wansi w'ekibiina kya National Resistance Movement.[1][3] Y'omu kubakyala abaatandikawo ekibiina ky'abakyala ekya Forum for African Women Educationalists (FAWE) n'afuuka ne ssentebe eyasooka okulembera boodi ya Uganda Chapter, ekitongole ekirwanirira eby'enjigiriza by'omwana ow'obuwala.[1]

Obulamu bwe

kyusa

Bamuzaala mu bizinga by'e Ssese nga kitaawe ye James Lutaaya n'abeerako mu Gayaza High School. nga alina abaana bana.[2]

Eby'okusoma kwe:

kyusa

Mu 1963, yeegata ku Gayaza Junior School gyeyava okugenda ku Gayaza High School mu 1970. Yali pulifekiti kweyateeka n'okuzannya Volleyball.[1] Yasomera ku yunivasite y'e Makerere n'afuna diguli mu bya sayansi mu Physics, Chemistry n'okubala, oluvannyuma yasuula Chemistry ku lwa Psychology.

By'azze akola:

kyusa

Y'amyuka ssentebe w'ekitongole ekiwandiisa bannayuganda.[4][5][6][7][8] Y'omu ku bamemba b'ekibiina ekigatta ba minista n'abakiiririra palamenti mu Afrika ekya Network of African Ministers and Parliamentarians Uganda Chapter.[1] Mulugendolwe olw'eby'obufuzii, mu palamenti ya Uganda yakolako mu kakiiko k'eby'ensimbi ekintu ekyamuwa akakisa okukwasizaako n'okufuna ebikozese okuyamba mu by'obulamu.[1] Yaliko ssentebe w'ekibiina kya Mama Alive Initiatives (MAI) ne memba wa Network of Women Parliamentarians mu Uganda.[1] Ali mu Rotary Club of Kampala mu bizinga by'e Ssese nga yakolako ng'omukulembezze wakyo eyavaako.[1] Yakulemberako akakiiko akaali kasaganya okuzimba rotary baanka y'e ddwaliro ly'e Mengo.[1] Memba w'akakiiko akavunaanyizibwa kusonga z'omwana ow'obuwala mu Uganda ng'ate memba w'akakiiko kakadukanya e Kisaakate Kya Nnabagereka.[1]

Mu bulamu bwe obwasooka, yakola ko nga yinginiya eyali atendekebwa ku ofiisi ezivunaanyizibwa mu kutambuza amabaluwa n'ebitereke wamu n'eby'empuliziganya. Nga wayise akaseera, yakizuula nti yali tayagala bya bwa yinginiya n'asalwo okudayo ku yunivasite e Makerere n'afuna dipulooma ey'okubiri mu by'okusomesa wakati wa 1979 ne 1980.[2] Oluvannyuma lw'omusomo zino yatwalibwa ku Gayaza High School gyeyava okugenda mu by'obufuzi mu 2001 n'afuuka omubaka omukyala eyali akiikirira disitulikiti y'e Kalangala mu palamenti.[2] Yalekulira eby'obufuzi ekyatiisa NRM ng'ekibiina ky'eby'obufuzi okuva eri abaali bagivuganya mu kutwala entebbe y'anaakiikirira disitulikiti y'e Kalangala.[9] Weyeegatta ku Gayaza High School okusomesa, yalondebwa ekibiina ekigata abazadde n'abasomesa, ng'akiikirira abasomesa.[2]Yalondebwa nga omumyuka w'akulira esomero, oluvannyuma n'aweebwa eky'okukulira esomero lino. Kino kyatukawo eyali akulira esomero lino Sheelagh Warren, yali awezezza emyaka 60 eg'okuwumula 60 nga addayo e Bungereza.[2] Ensangi zino akola gwakubudabuda.[2]

Laba ne bino

kyusa
kyusa

References

kyusa
  1. 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 https://gayazaoldgirls.com/imt_team/hon-ruth-nvumetta-kavuma/
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/kavuma-was-gayaza-high-s-first-ugandan-headteacher-1579192
  3. https://slideplayer.com/slide/6590900/
  4. http://nilepost.co.ug/2020/01/14/joseph-biribonwa-appointed-new-nira-board-chairperson/
  5. https://www.independent.co.ug/tag/ruth-nvumetta-kavuma/
  6. https://www.nira.go.ug/about-nira/board-of-directors
  7. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1514964
  8. https://ugandaradionetwork.net/a/file.php?fileId=191829
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-22. Retrieved 2022-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)