Nyamityobora FC
Nyamityobora Football Club, oba Nyamityobora FC, kiraabu ya mupiira esinziira mu Mbarara, mu bitundu by'Omubugwanjuba bwa Uganda.
Ebigikwatako
kyusaNyamityobora yazannyirako mu Kibinja kya Uganda ekyababinyweera mu sizoni ya 2018–19, oluvannyuma lw'okubeera nga baali basumusiddwa nga bawangudde ekikopo kya liigi ya Uganda ey'okubiri mu kibinja Rwenzori mu 2017/2018 mu sizoni y'omupiira gwa Uganda.[1] Baawangula omupiira ogwaali gusalawo agenda mu kibinja kyawagulu ogwaliwo mu 2016.[2] Baasalibwaako oluvannyuma lw'omwaka gumu nga bali mu kibinja ekyawagulu.
Kiraabu eno yeenyigira mu mbiranye y'e Mbarara nga battunka ne Mbarara City FC, gyebaakubwa omulundi ogwaali gusookera ddala mu kibinja kya wagulu.[3]
Ebijuliziddwaamu
kyusa- ↑ FUFA (26 April 2018). "FUFA Big League: Nyamityobora Qualifies For Uganda Premier League". Kampala: Federation of Uganda Football Associations (FUFA). Retrieved 3 July 2018.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-12-15. Retrieved 2024-09-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-10-23. Retrieved 2024-09-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)