Embeera y’Obuntu ey’ Obubuguumirivu (enthusiasm)

Men reacting enthusiastically

Obubuguumirivu kitegeeza okukyamuukirira ennyo oba okunyumirwa ennyo “omulamwa”.Oyinza okukyamuukirira nga bakuwaanye , nga owangudde, nga ofunye amagoba agatali ga bulijjo oba ng’olina ky’ovumbudde.

Okuyigiriza omwana okukozesa obwongo oba okwefumitiriza ng’alambika ensonga (inductive reasoning) kimubuguumiriza nnyo okusinga okumulambululira ensonga kubanga mu kulambika ensonga aba yezuulira ku bubwe.

Kyokka okubuguumirira ekisukkulumye kiyinza okukuleetera okufiirwa n’obutatuuka ku ky’oyagala kubanga oyinza okukola ensobi ng’olowooza nti buli lunaku bwe kinaabeera oba nga olowooza nti kiwedde so ng’ate tekinnaggwa , kikyakwetaagisa okufunvubira.

Okumala ebiseera ng’okola ebintu ebikusanyusa nakyo kiyinza okukubuguumiriza kyokka waliwo abantu nga bbo mu buttonde bwabwe babuguumirivu (bakyamufu) awatali kwegulumiza , kukudaala, oba okuduula . Obukyamuukirivu obw’okwemanyamanya n’okweragalaga si bulungi.