amaaso amaleadde

Enfaanana y’obulwadde buno

kyusa

Kino kitegeeza kukendeera kwa busobozi bw'amaaso okulaba[[1]] obulungi, era nekibanga kyetaagisa embeera eteri ya bulijjo omuntu okusobola okulaba obulungi, okugeza nga bambala gaalubindi. Omuntu bw’aba nga talabirako ddala ayogerwako nga muzibe. Obulemu mu kulaba buleetera abantu okukaluubirizibwa mu mirimu gyabwe egya bulijjo gamba nga okuvuga ebidduka, okusoma, okwetaba ne bannaabwe n’okutambula kwennyini.

Ebibuleeta

kyusa

Ebisinga okuleeta obulemu mu nsi yonna mulimu nga refractive errors (43%), cataracts (33%), ne glaucoma (2%). Obuzibu obwa refractive errors buzingiramu okulaba ebiri okumpi, okulaba ebiri ewala, wamu n’okulaba engeri y’ebizeezengere. Ekintu ekirala ekitera okuleeta obulemu ku maaso kwe kukula mu myaka, sukaali, okukwata ekifu ku mmunye, omwana okuziba amaaso ng’akyali muto wamu n’okukosebwa okulala. Obulemu ku maaso era busobola okuleetebwa obuzibu ku bwongo nga buva ku kusannyalala oba okutulugunyizibwa mu birowoozo n’ebirala. Obulwadde buno busobola kukeberwa n’ekola eyitibwa eye exam.

Obujjanjabi

kyusa

Ekitongole ky’Ebyobulamu eky’ensi yonna kiteebereza nti ebitundu 80% obw’obulemu ku maaso busobola okuziyizibwa oba oba okuwonyezebwa nga bujjanjabiddwa. Abantu abasing abalina obulemu ku maaso batera okujjanjabibwa nga bakyusaamu mu bifo mwe babeera oba okuweebwa ebyuma ebisobola okubayambako okkulaba.

Obunene bw’ekizibu kino

kyusa

Mu 2012 waaliwo obukadde bw’abantu 285 abaalina obulemu ku maaso era nga ku abo 246 baali tebalaba bulungi ate obukadde 39 baali bamuzibe. Abantu abasinga okubeera n’obuzi bw’obulemu ku maaso bali mu nsi ezikyakula era nga basussa emyaka 50. Omuwendo gw’abantu abalina obulemu ku maaso gugenze gukka okuva mu myaka 1990. Obulemu buno bukosa abantu mu byenfuna mu ngeri bbiri. Engeri esooka ng’abantu basaasaanya nnyo ensimbi ku bujjanjabi ate engeri endala nga tebasobola kukola nga bwe bandibadde bakola