Obulwadde bw'Ennyingo (Arthritis)

Obulwadde bw'ennyingo, obwogerwako mu Lungereza nga Arthritis kbwe bulwadde obukosa ennyingo.[1]

Obulwadde bwe'ennyingo

Obumu ku bubonero bw'obulwadde buno mulimu nga okulumizibwa mu nnyingo, ebbugumu, okumyukirira ku lususu, okuzimba, ennyingo okukakanyala, okulumizibwa singa ogezaako okutambuza ennyingo erimu obukosefu.

Obulwadde bwa Arthritis bwa ngeri nnyingi ezisukka mu kikumi naye ezitera okulabika mulimu nga Osteoarthritis nga buno butera kukwata mu ngalo, maviivi ne mu bisambi, Rheumatoid arthritis nga buno butera kukwata mu mikono ne mu bugere.

Obumu ku bujjanjabi bw'obulwadde buno mulimu okuteekamu bbaraafu ku kifo ewali obulumi, okuyisa ekintu ekibuguma ku kifo awali obuvune. Okukendeeza ku mugejjo wamu n'okukola dduyiro biyinza nabyo okukendeeza ku buzibu buno.

Ekika ky'obulwadde bw'ennyingo ekya Osteoarthritis bukwata abantu abasukka ebitundu 3.8% ate Rheumatoid bwo bukwata abantu abasukka mu 0.24% buli mwaka.

Okutwaliza awamu obulwadde buno businga kukwata bantu abakuliridde mu myaka.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_Arthritis