Obulwadde bw’entunnunsi abamu ensangi zino bwe baakazaako erya Puleesa [[1]] y'embeera ebeerawo ng’emisuwa egitambuza omusaayi gigutambuliza ku ntunnunsi ezawaggulu. Obulwadde buno tebutera kulaga bubonera naye singa bukula buleeta obutyabaga ng’omutima okulemererwa, okusannyalala, okulwala ensigo n'endwadde endala.

A woman suffering from Hypertension getting her blood pressure checked

Obulwadde bwa puleesa bwawulwamu emirundi ebiri, entunnunsi eyawaggulu (Primary high blood pressure) n’entunnunsi eya wansi ne "Secondary high blood pressure". Obulwadde bw’entunnunsi bugambibwa okuba nga buva ku musaayi wamu n'embeera z'omuntu nga okunywa omwenge, omugejjo, sigala n'ebirala. Ate "Secondry blood pressure ” bugambibwa okuba nga buleetebwa endwadde nga ensigo, enseke okufunda, n'okukozesa empeke z'ekizaalaggumba.

Entunnunsi z’omuntu zisobola okupimibwa ne kitegeerwa nti omuntu alina entunnunsi ezabulijjo oba nti zisusse oba ziri wansi ku ezo z’alina okuba nazo. Omuntu omulamu alina okubeera n’entunnunsi nga zirina ekipimo ekiri wakati wa 100-140 mmHg. Omuntu agambibwa okuba n’entunnunsi eza waggulu oba wansi ng’ekipimo kiri 140/90 mmHg.

Engeri oyo kwewala -kwe kukola exercise

Engeri y’okukuuma entunnunsi nga nnungi

kyusa

Okukyusa Ku mbeera z'obulamu obwa bulijjo n’okufuna obujjanjabi. Okukendeeza ku mugejjo, omunnyo ogulibwa okukola dduyiro n'okulya emmere erimu ebiriisa nabyo biyamba okukuuma entunnunsi z’omuntu nga nnungi. Mu nsi yonna obulwadde buno bukwakata abantu abali wakati w'ebitundu 16 Ku 37 Ku buli kikumi. Mu 2010, Obulwadde buno bwatta abantu abasukka 9,400,000.