Obulwadde bw'Obutalaba biri wala
Obutalaba biri wala[[1]] y'embeera ekitangaala we kikubira kungulu ku liiso, n'ekirema kuyingira munda nga bwe kyandibadde. Era kino kiviirako omuntu okutandika okuba nga tasobola kulaba biri wala kyokka ng'ebimuli okumpi abiraba bulungi. Mu bubonero obulala kuliko okulumwa omutwe, ssaako okukaluubirizibwa ng'otunula. Obulwadde buno singa busajjuka, omulwadde yandifa akatundu k'eriiso akakuŋŋaanya ekitangaala, okufuna obulwadde bw'ekiyira (cataract) ssaako obwa glaucama.
Ebireeta endwadde eno kirowoozebwa nti kuliko ensonga y'obuzaale wamu n'ebyo ebitwetoolodde, nga mwe muli omuntu okukola omulimu ogumwetaagisa okutunuulira ekintu nga kisemberedde nnyo amaaso, omuntu okumala ekiseera ekiwanvu ng'ali mu kizimbe munda, ssaako okuba nga mu booluganda lwe waliwo omu gwe bwali bukutte.
Okukebera endwadde eno, bakozesa kye bayita ekigezo ky'amaaso, okuzuula ob'asobola okulaba ebiri okumpi era n'ebiri ewala. Waliwo omukisa gw'abaana abato okuwona endwadde eno ey'obutalaba biri wala, nga mwe muli okutandika okubeeranga wabweru w'enju era nga bafuna ekitangaala ky'obutonde. Oba obulwadde buno buyinza okuggyibwawo ng'omulwadde akozesa gaalubindi, oba okulongoosa amaaso ago. Obulwadde buno bwe businga okukwata amaaso mu nsi yonna, nga bukwata abantu abawererako ddala, naye ng'omuwendo gw'abalwadde gugenze gweyongera okuva eyo mu myaka egy'ataano (1950), era bwe bumu ku nsibuko y'obuzibe bw'amaaso mu bantu.