Okukulungutana kw'obwongo[[1]] kuzingiramu ebintu bingi nga muno muzingiramu n'okutya. Okulungutana kiyinza okuviirako omuntu omutima okukubira okumukumu n'okukankana. Ebika by'okukulungutama bingi nga muno mulimu nga okukulungutana okuteebereka, okukulungutana okulina ekibuleeta, okukulungutana okuleetebwa okutya n'ebirala.


Obulwadde bw'okukulungutana buyinza okubeera obw'omu musaayi oba nga kiva ku mbeera eziri mu bwebulungulule. Omwana ayinza okukwatibwa obulwadde bw'okukulungutana singa abeera yakijjanyizibwa nga muto oba nga yeetooroddwa embeera y'obwavu. Okukulungutana olumu kutera kujja n'okufuna obulemu ku bwongo wamu n'okukozesa ebintu ebiralalala. Obubonero bw'okukulungutana singa bubeera bulabiddwa kyagala omuntu abulina afune obujjanjabi nga emyezi mukaaga teginnayita.


Singa omuntu alina obubonero buno taweebwa bujjanjabi, olwo obulwadde buno bufuuka bwa lubeerera. Obumu ku bujjanjabi obuyinza okuweebwa omuntu alina obulwadde bw'okukulungutana mulimu ng’okukyusa ku mbeera y'obulamu bw'omuntu, okubudaabudibwa n'obulala. Obulwadde bw'okukulungutana businga nnyo mu bakyala nga wano bukubisa obuli mu basajja emirundi esatu era nga butera kutandikira ku bantu b'emyaka 25. Abantu 12% be bakwatibwa obulwadde bw'okukulungutana buli mwaka. Omuwendo gw'abantu abalina obulwadde buno guli waggulu nnyo mu U.S ne Europe.