Obulwadde bw'Okulumizibwa amagulu


Enfaanana y'obulwadde buno kyusa

Okulumwa amagulu[[1]] y'embeera ereetera omuntu okukaluubirizibwa mu kutambula. Obulumi buno omuntu asinga kubuwulira ng’awumuddeko era ayinza n'okulemwa okwebaka. Oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa mu kwebaka, omuntu ayinza okusiiba nga yeebase, talina maanyi era nga teyeeyagala.

Obuzibu obujja n'obulwadde buno kyusa

Obumu ku buzibu obuli mu kulumizibwa mu magulu kuliko okufuna n'obuzibu mu nsigo, obulwadde bwa sukaali. Obulwadde buno bwawulibwamu emirundi ebiri nga kuno kuliko omuntu okulumwa amagulu ng’akyali muto wamu n'okulumizibwa ng'omuntu akuze. Omuntu okulumwa amagulu nga akuze kigwa bugwi. Obujjanjabi obuweebwa omuntu businziira ku bubonero bw'alina.

Enzijanjaba kyusa

Okulumizibwa mu magulu kiyinza okuvumulwa nga ekibuleeta kijjanjabiddwa naye nga obujjanjabi mulimu okukyusa ku mbeera wamu n'okufuna eddagala. Okukyusa mu mbeera y'obulamu kuliko nga okuva ku mwenge, sigala n'okwebaka obulungi. Eddagala erisinga okukozesebwa ku bulwadde buno kuliko levadopa oba dapamine agonist nga pramipexole. Abantu abali wakati wa 5-15% mu Amerika bateeberezebwa okuba n'obuzibu buno. Abakyala be basinga okutawaanyizibwa obulwadde buno okusinga abasajja naye nga kisinga kujja na myaka