Obulwadde bw'Okwebaka
Obulwadde bw’okwebaka, obumanyiddwa mu Lungereza nga 'Insomnia'[[1]] buno bwe buzibu obutaataganya eneebaka y'omuntu. Omuntu asobola okulemwa okwebaka oba okwebaka ennyo ekisusse. Omuntu alina obuzibu bwa "insomnia" atera obutabeera na maanyi, teyeeyagala n'obubonero obulala. Obuzibu buno busobola okumala ebbanga ettono wakati w'ennaku n'omwezi oba ezisukka omwezi.
Obulwadde bw’okwekaba busobola okwereeta bwokka oba okuleetebwa embeera endala nga okutawaanyizibwa mu bwongo, omutima okulemererwa, ekikeeto n'embeera endala. Okukozesa ebintu nga taaba n'omwenge nabyo bigambibwa okuvaako obuzibu buno.
Obujjanjabi
kyusaEkisookera ddala omuntu alina okwemanyiiza okwebaka mu budde bwe bumu ate era n’azuukukira mu budde bwe bumu. Kyagala nnyo omuntu n’abeera nga tataatagana mu budde bwe obw’okwebaka. Omuntu okukola ebintu ebimusobozesa okwebaka obulungi wamu n'okukyusa mu bulamu bwe obwa bulijjo bwe bujjanjabi obusookerwako obw’obulwadde bw’okwebaka. Enneebaka ennungi mulimu nga okwebaka mu budde, okufuna akasana, ekifo ekisirifu n'okukola dduyiro. Omuntu alina obuzibu buno asobola okufuna obujjanjabi okumala wikki nnya ku ttaano.
Waliwo n’amakerenda agasobola okukozesebwa omuntu ne yeebaka naye gano ga bulabe kbuanga gasobola okukosa omuntu, okuwunga, n’okugamanyiira ne kiba nti omuntu bw’atagamira tasobola kwebaka.
Abantu abakulu abali wakati w'ebitundu kkumi ku n’asatu Ku buli kikumi balina obuzibu bwa "insomnia" era nga businga nnyo mu bantu abasukka emyaka enkaaga. Abakazi batawaanyizibwa nnyo obuzibu buno okusinga abasajja.