Obulwadde bw'okubeera n’amazzi ku bwongo


Enfaanana y’obulwadde buno kyusa

Eno y’embeera y’okubeera n’amazzi mu bwongo[[1]]. Amazzi ago gayitibwa cerebrospinal fluid. Amazzi ago galeetera galeetera ekiwanga okubeera nga kinyigirizibwa mu ngeri etali ya bulijjo.

Obubonero kyusa

Omuntu omukulu alina obuzibu buno afuna okulumizibwa mu mutwe, okukaluubirizibwa mu ngeri gy’alabamu ebintu ng’ekimu akirabamu bibiri, obutasobola kuyimirira bulungi n’atereera, okukyuka mu bunnabuntu bwe, n’okukyukako ku bwongo. Mu baana obulwadde buno butera okubaleetera okugejja mu bunene bw'emitwe. Obumu Ku bubonero obulala mulimu nga okusesema, obuteebaka n'ebirala.

Obulwadde buno omuntu asobola okubufuna ng’azaalibwa oba kadde konna mu bulamu bwe. Ebimu Ku biviirako obulwadde buno mulimu omuntu okufuna obulemu ku mutwe, okukuluusanyizibwa Ku bwongo, "Intra ventricular homorrhage" n'obulala.

Enzijanjaba kyusa

Obulwadde buno busobola okujjanjabibwa nga omuntu aloongoosebwa "Shunt system". Singa omuntu afuna obubonero buno obw'omujjirano ate n'atafuna bujjanjabi, kiyinza okumuviirako okufa. Omwana omu oba babiri ku ku 1000 abazaalibwa bababa n’obulwadde buno. Wabula, obulwadde buno businga nnyo mu nsi ezikyakula.