Obulwadde bw'okulumizibwa mu luba
Enfaanana y’obulwadde buno
kyusaObulwadde bw'okulumizibwa mu luba kika kya bukosefu obiviirako omuntu okubeera n'obuzibu mu ngeri ebinywa bye ebyomukyenyi gye bikolamu. Obumu ku bubonero bw'bulwadde buno mulimu nga okulumizibwa mu binywa, okulumizibwa ku matu, obutawoomerwa kantu konna n'ebirala.
Ekireeta obulwadde buno
kyusaEkiviirako obulwadde buno tekimanyiddwa, wabula waliwo ebigambibwa okuviirako obulwadde buno nga kino kuliko; Obulwadde bwa sukaali, obuzibu mu ntambula y'omusaayi mu mubiri n'ebirala. Obujjanjabi obuweebwa omuntu alina obuzibu buno businziira ku ngeri gy'afaananamu n'ekyo ekigambwa okuviirako obulwadde.
Eddagala
kyusaCorticosteroid ddagala erigambibwa okwongera Ku mbeera y'omuntu wabula ate n’eddagala eddala lingi liyinza okweyambisibwa. "Eye patch" ly'eddagala eriyinza okweyambisibwa okuteeka ku liiso eririko obuvune lireme kukala. Omuntu alina Obulwadde buno takkirizibwa kulongoosebwa.
Obulwadde buno businga nnyo mu bantu wakati w'emyaka 15 ne 60. Obulwadde buno bukwata abasajja n'abakyala obulwadde mu ngeri ya kyenkanyi. Bufuna erinnya lyabo okuva ku musawo eyakuguka mu kulongoosa abantu, "Charles Bell" era nga ye yasooka okuvumbula embeera gye bukosaamu obusuwa bw'omusaayi.