Anthrax[[1]] bulwadde obuleetebwa obuwuka bwa bacteria obuyitibwa Bacilis anthracis. Buno bukwata mu ngeri nga nnya, era zeezino wammanga: Anthrax owoomubyenda, owookulususu, akwatira mu mpiso, era ne mu mpewo/omukka ogussibwa.

Obulwadde bwa Anthrax

Obubonero bwa Anthrax butandika okweyoleka mu bbanga eriri wakati w'olunaku olumu ne wiiki bbiri oluvannyuma lw'okukwata omuntu. Ekika kya Anthrax owooku lususu kitandika n'akatulututtu katono akazimbya ekitundu ky'omubiri ekiba kikeetoolodde, era katera okuvaamu ebbwa eddene ddala nga wakati lirimu ekintu ekiddugavu. Ye Anthrax akwatira mu mpewo atandika na musujja, okulumizibwa mu kufuba, ssaako okukaluubirizibwa mu kussa.

Ate ye Anthrax akwata mu byenda aleeta ebintu ng'okusesema, okusinduukirirwa emmeeme n'okuddukana. Kyokka ye Anthrax akwatira mu mpiso ajja na musujja ssaako n'okuzimba kw'ekifo awaba waakubiddwa empiso, ng'oluusi kiyinza n'okuzaala amasira.

Obulwadde buno busaasaanira mu bye tuggya ku nsolo, gamba ng'ennyama n'amata. Wabula obulwadde buno tebuva ku muntu kudda ku mulala. Obulwadde buno buzuulwa ng'omulwadde bamuggyeeko omusaayi, naye nga waliwo eddagala ergema abantu n'ebisolo okwetangira obulwadde buno mu bifo yonna naddala gye bwali buguddeko. Eddagala erikozesebwa okujjanjaba lisinziira ku kika kya Anthrax ekiba kiruma omulwadde, naye nga n'ebisolo ebirya binnaabyo bisobola okukwatibwa Anthrax singa birya ekibadde ekirwadde.