Obulwadde bwa Hernia
Hernia
Hernia kiba kizimba era nga kisinga kukwata kyenda. Hernia alimu ebika ebiwerako, naye ng'okusinga akwata mu kabutobuto naddala ebbalibbali w'akabutobuto ekisambi we kitandikira. Hernia aleetebwa omusaayi okwesiba nga tegukyagenda mu bifo gye gusaanidde okugenda, ekintu ekireetera ekizimba ekyo ekijja n'obulumi. Mu bika bya Heria ebirala mulimu nga ow'oku kyenda (hiatus hernia), owa wansi w'ekkundi (incisional Hernia) ssaako oyo akwata mu kkundi kwennyini (Umbilical Hernia).
Ebiyinza okuviirako Hernia yenna okukula mu mubiri kuliko ebintu ng'ekiziyiro (okuziyiraziyira), omugejjo (okugejja), omukyala okufuna olubuto (olw'omwana) n'ebirala.
Ku basajja Hernia ono akwata wakati w'ekisambi n'olubuto ng'ono tatera kuleeta bubonero era tatera kwetaagisa kulongoosebwa mu basajja. Wabula ku bakazi aba waabulabe nnyo era kiba kisaana omukyala alongoosebwe mu budde.
Obumu ku bubonero bw'endwadde ya Hernia
Obubonero buno bwawukanamu okusinziira ku kika kya Hernia, naye buno bwe businga okweyoreka ku ndwadde eno: Okuzimba okujja n'obulumi awo Hernia waaba akutte okugeza, ku kabutobuto, ate mu basajja watera okubaawo okuzimba kw'ensigo ezizaala n'obulumi mu kifo ekyo kyonna. Hernia era bw'asimba awantu, wajja obulumi bungi ne kikalubya obulamu ng'omulwadde oyo akolola, ng'akozesa omubiri oba ng'agenze mu kaabuyonjo.
Ebimu ku bireeta endwadde ya Hernia
Hernia naddala ow'oku kyenda aleetebwa ebintu nga okusitula ebintu ebizito ennyo ku mubiri gwo, okukololakolola ennyo, okukubwa ennyo ku lubuto oba n'omubiri okumala akaseera akawanvu nga teguteredde bulungi. Mu birala mulimu ebintu ebyongera okuleeguula olubuto, nga bino byandiviirako okuleeta Hernia oba okuttula oyo abaddewo ng'asirise. Muno mulimu ebintu ng'omugejjo, olubuto okwepika ng'ebyenda byekyusa, ng'omuntu afuka oba okwekkama ennyo ng'ali mu kaabuyonjo, endwadde ezikwata ku mawuggwe n'ebirala. N'ekirala, singa ennyingo z'omubiri zinafuwa olw'endya embi, olw'okunywa sigala oba okukozesa omubiri ekisusse.