Obutaffaali bw'Omubiri (Body cells)

Template:Charles Muwanga Mu Luganda oluyivuwavu buli kigambo kyawukana mu makulu n'ebirara ne bwe biba bifaanagana nnyo mu njatula ne mu mpandiika ! Waliwo enjawulo wakati w'akatono n'akatini ate era waliwo enjawulo wakati w'akataffaali n'akatoffaali.

Mu essomabiramu twogera ku butaffaali bw'omubiri (body Cells) kyokka mu essomabuziba(Chemistry) ne essomabuzimbe oba essomabutonde (Physics) tutera kwogera ku botoffaali(Particles).

Obutaffaali obuzimba omubiri bukolebwa molekyu ez’enjawulo. Zino ze molekyu ezizimba omubiri ezirina endagabutonde (DNA) era nga zisobola okuzaala endala munda.

Obutaffaali obuzimba omubiri nga bwekutte wamu bukola emiwuula egy'ebitundu by'omubiri . Buno bwe buzimbe bw’omubiri obukola ebitundu by’omubiri eby’enjawulo.